< 路加福音 13 >

1 就在这时候,有几个人向耶稣讲述了加利利人的事情,这几个人当时正在神庙献祭,但彼拉多却将他们杀死了。
Mu kiseera ekyo ne wabaawo abategeeza Yesu nga Piraato bwe yatta Abagaliraaya, omusaayi gwabwe n’agutabula mu biweebwayo byabwe.
2 耶稣问:“这些加利利人为什么遭受如此痛苦?是因为罪孽比其他加利利人更深重吗?
Yesu n’abagamba nti, “Mulowooza nti Abagaliraaya abo baali boonoonyi nnyo okusinga Abagaliraaya abalala bonna, balyoke baboneebone batyo?
3 告诉你们,并非如此。除非你们悔改,否则也将如此灭亡。
Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe mugenda kuzikirira ng’abo bwe baazikirira.
4 当年西罗亚的高塔倒塌时压死了十八个人,难道这些人的罪行比所有耶路撒冷的居民更大吗?
Ate bali ekkumi n’omunaana omunaala gwa Sirowamu be gwagwako, ne gubatta, mulowooza be baali basinga obwonoonyi okusinga abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi bonna?
5 告诉你们,并非如此。除非你们悔改,否则也将如此灭亡。”
Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe bwe mugenda okuzikirira bwe mutyo.”
6 然后耶稣讲了一个故事:“有一个人在葡萄园里种了一棵无花果树。一天他来到无花果树那里找果子,但没有找到。
Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyasimba omutiini mu nnimiro ye. N’agendangayo okugulambula okulaba obanga gubazeeko ebibala, n’asanga nga tegubazeeko kibala na kimu.
7 于是他对看园人说:‘这三年来我一直在找这棵无花果树的果子,却总是找不到,把它砍了吧!不要让它白白占了空间。’
Kyeyava alagira omusajja we amulimira ennimiro eyo nti, ‘Omuti guno gutemewo. Kubanga gino emyaka esatu nga nambula omuti guno, naye tegubalangako kibala na kimu. Gwemalira bwereere ettaka lyaffe.’
8 看园人说:‘主人,再多留它一年吧,我给它周围松松土,施施肥,
Omulimi we n’addamu nti, ‘Mukama wange, tuguleke tetugutemawo. Ka tuguweeyo omwaka gumu, nzija kugutemeratemera era nguteekeko n’ebigimusa.
9 如果它结果了,那就太好了。如果没有结果,再砍它也不迟。’”
Bwe gulibala ebibala gye bujja, kiriba kirungi! Naye bwe gutalibala, olwo noolyoka ogutemawo.’”
10 安息日那天,耶稣在会堂向众人传道。
Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro,
11 一名恶灵附体的女人已经病了十八年,后背彻底弯曲,完全直不起来。
ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola.
12 耶稣看见她,便把她叫过来说:“你可以摆脱这疾病了。”
Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.”
13 然后耶稣双手按在她身上,她立刻直起腰,开始赞美上帝。
N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!
14 但因为今天是安息日,耶稣在这一天治病让会堂的主事很不高兴。他对民众说:“每星期有六天应当工作,你们可以在那六天求医,但安息日不行。”
Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”
15 但主回答:“你这伪君子,这一天你们还是要把牛或者驴子从畜栏里放出来,牵去喝水,不是吗?
Mukama waffe n’amuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi?
16 那么这女人作为亚伯拉罕的女儿,已经被撒旦困住十八年,难道不应当在安息日解开束缚,获得自由吗?”
Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?”
17 听到这番话,反对耶稣的人都感到很羞愧,民众却因他的伟大之举而欢喜。
Bwe yayogera bw’atyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina ky’abantu bonna ne bajjula essanyu olw’ebintu eby’ekitalo bye yakola.
18 耶稣说:“上帝之国像什么呢?我要把它比作什么呢?
Awo Yesu kyeyava abayigiriza ng’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Mbugeraageranye na ki?
19 它就像一粒芥菜种子,一个人把它种在自己的园子里,长成一棵树,天空的飞鸟会在它的枝头栖息。”
Bufaanana na kaweke ka kaladaali omusajja ke yasiga mu nnimiro ye. Kaamera ne kavaamu omuti, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”
20 他又问到:“我要把上帝之国比作什么呢?
Ate era n’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda mbugeraageranye na ki?
21 它就像酵母,女人把它与三碗面粉混在一起,等着它发酵。”
Buliŋŋanga ekizimbulukusa omukazi kye yatabulira mu bipimo by’obuwunga bisatu okutuusa obuwunga bwonna lwe bwazimbulukuka.”
22 耶稣朝着耶路撒冷的方向走去,沿途穿乡过城,教化众人。
Awo Yesu n’ayita mu bibuga ne mu bubuga; yagendanga ayigiriza ng’ali ku lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi.
23 有一个人问他:“主啊,是不是只有很少的人才会得到救赎?” 他对众人说:
Ne wabaawo eyeewuunya nti, “Mukama waffe, abantu abalirokolebwa nga baliba batono?” Yesu n’addamu nti,
24 “要努力穿过这条窄门,我告诉你们,将来会有许多人想要进去,但却进不去。
“Mufube okuyingira mu mulyango omufunda kubanga mbagamba nti, bangi balyagala okuyingira naye tebalisobola.
25 等到房子的主人起来关上门,你们就会站在门外敲门说:‘主人啊,请开门吧!’但他的回答是:‘我不认识你们,也不知道你们从哪里来。’
Nannyinimu bw’alisituka n’aggalawo oluggi, mugenda kubeera bweru nga mukonkona nga bwe mwegayirira nti, ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ Agenda kubaanukula nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo.’
26 这时候你们会说:‘但我们曾与你一起吃喝,你曾在我们的街道上教导我们。’
Nammwe muliddamu nti, ‘Twalyanga naawe era twanywanga ffenna, era wayigirizanga mu nguudo z’ewaffe.’
27 他会回复:‘告诉你们吧,我不认识你们,也不知道你们从何而来。你们这些作恶之人,从我这里离开!’
Naye alibaddamu nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo. Munviire mwenna abakozi b’ebitali bya bituukirivu.’
28 当你们看见亚伯拉罕、以撒、雅各和众先知都已置身上帝之国,你们却被赶了出去,到时候必然有人痛苦不堪。
Era waliba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru.
29 人们从四面八方赶来,在上帝之国坐下来用餐。
Kubanga abantu baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne bava ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, ne batuula ku mmeeza mu bwakabaka bwa Katonda.
30 后来者会排在前面,先来者会排在后面。”
Era laba, abooluvannyuma baliba aboolubereberye, n’aboolubereberye baliba abooluvannyuma.”
31 这时候,有几个法利赛人对耶稣说:“你应该离开这里,因为希律想要杀你。”
Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamu ku Bafalisaayo abajja eri Yesu ne bamugamba nti, “Tambula ove wano, kubanga Kerode ayagala kukutta.”
32 耶稣回答:“去告诉那个老狐狸,今天和明天我需要驱鬼治病,到了第三天,我就会完成来到这里的使命。
Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo nti laba ngoba baddayimooni, n’okuwonya abalwadde, leero, n’enkya, era ku lunaku olwokusatu ndimaliriza.
33 但无论是今天、明天还是后天,我都必须前行,因为先知不能在耶路撒冷以外的地点死去。
Naye leero, n’enkya, ne luli nsaana mbeere ku lugendo lwange nga ntambula, kubanga tekisoboka nnabbi okufiira ebweru wa Yerusaalemi!
34 耶路撒冷啊,耶路撒冷,你杀害先知,用石头把派给你的人砸死。我总是想把你的儿女召在一起,就像母鸡把小鸡聚在翅膀底下,只是你们不愿意。
“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi, atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana!
35 看吧,你们的家将变成荒芜。告诉你们,从今以后,你们再也不会看到我,除非你们说:‘祝福奉主之名前来之人。’”
Kale laba ennyumba yammwe erekeddwa awo. Era mbagamba nti temugenda kuddayo kundaba okutuusa ekiseera lwe kirituuka ne mugamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’”

< 路加福音 13 >