< 使徒行传 12 >

1 当时君王希律开始迫害教会成员。
Awo mu biro ebyo Kabaka Kerode n’atandika okuyigganya abamu ku bakkiriza ab’omu Kkanisa.
2 他用剑处决了约翰的哥哥雅各,
N’atta Yakobo muganda wa Yokaana n’ekitala.
3 由于此举受到了犹太人的支持,于是他又在除酵节期间捉拿彼得。
Bwe yalaba nga ky’akoze kisanyusizza Abayudaaya, n’akwata Peetero mu kiseera eky’Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa
4 他们逮捕了彼得后将其投入监牢,由四班士兵看守,每班四个人。君王希律打算逾越节过后,就对他进行公审。
n’amusiba mu kkomera, ng’amutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina eby’abaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ng’Embaga y’Okuyitako ewedde.
5 彼得在监牢期间,教会开始为他虔诚地祈求上帝。
Peetero n’akuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa n’enyiikira nnyo okumusabira eri Katonda.
6 就在希律打算将他公审的前一夜,彼得被安排睡在两名士兵中间,手腕上的两条锁链分别与两人栓在一起,还有卫兵守在门前。
Ekiro ekyo, ng’enkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati w’abaserikale babiri, ng’asibiddwa n’enjegere bbiri, nga ne ku mulyango gw’ekkomera kuliko abakuumi.
7 忽然,一名天使出现,光芒照亮了牢房。天使将彼得唤醒,说:“快点!起来吧!”于是彼得手上的锁链就脱落了。
Laba malayika wa Mukama n’ayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika n’akuba ku Peetero mu mbiriizi n’amuzuukusa ng’amugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.
8 天使对他说:“穿上衣服和鞋!”彼得照做了。天使又对他说:“披上外衣,跟我走!”
Malayika n’amugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale n’engatto zo.” Peetero n’akola nga bw’agambiddwa. Malayika n’amugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.”
9 于是彼得就跟着天使走出去,但他只是以为看到了异象,没有意识到天使所做的一切都在真实发生。
Awo Peetero n’agoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ng’alowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala.
10 他们经过第一队和第二队守卫,来到通往城内的铁门,门便自动给他们打开。他们出来后沿着街道行走,天使忽然就离开了。
Ne bayita ku bakuumi abasooka n’abookubiri ne batuuka ku luggi olunene olw’ekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika n’amuleka.
11 彼得这时候才明白,说:“现在我知道怎么回事了!主派天使将我从希律的权势中拯救出来,让我躲过犹太人的阴谋。”
Awo Peetero bwe yeddamu n’alyoka ategeera bwe bibadde, n’agamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we n’anziggya mu mukono gwa Kerode, era n’amponya n’eby’akabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”
12 明白这一切,他就到约翰(又名马可)的母亲玛利亚家中,很多信徒聚在那里祷告。
Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, n’atambula n’alaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba.
13 彼得敲了敲大门,一位名叫罗大的侍女出来准备开门。
Awo Peetero n’akonkona ku luggi olunene olw’ebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda n’ajja okuggulawo.
14 但认出是彼得的声音后,她兴奋的顾不上开门就跑进屋,大声喊:“彼得就在门外!。”
Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, n’adduka buddusi nga n’oluggi talugguddeewo, n’ategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!”
15 大家说:“你疯了!”她却坚持地说这是真的。他们说:“那一定是他的天使!”
Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, “Oguddemu akazoole.” Naye ne yeyongera okulumiriza nti ky’agamba bwe kiri. Ne bagamba nti, “Oyo malayika we.”
16 彼得继续敲门,他们最终打开了门,一见是他,非常惊讶。
Naye Peetero n’ayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo.
17 彼得向他们举起手示意安静,然后对他们解释主如何带他走出监牢。他又说:“把这事告诉雅各和众兄弟。”然后就离开去往别处了。
N’abakomako basirike, n’alyoka abategeeza byonna ebyamubaddeko, nga Mukama bwe yamusumuludde mu kkomera. N’abagamba nti, “Mutegeeze Yakobo n’abooluganda bino byonna ebibaddewo.” Awo n’afuluma n’alaga mu kifo ekirala.
18 天亮的时候,士兵们惊慌不已,不知彼得去了哪里。
Enkeera ekkomera ne lijjula akagugumuko ng’abaserikale beebuuza nti, “Peetero abulidde wa?”
19 希律开始四处搜索他,但始终没有找到。于是就审问卫兵,然后下令把他们处死。随后希律便离开犹太去往该撒利亚,在那里住下。
Awo Kerode bwe yamutumya ne basanga nga taliiyo, ne bamunoonya n’ababula. Abaserikale bwe baamala okuwozesebwa n’alagira babafulumye babatte. Oluvannyuma Kerode n’ava e Buyudaaya n’agenda abeera e Kayisaliya.
20 此刻的希律对推罗和西顿人充满了愤怒。这两个地方的人派了一个联合代表团来见他,设法拉拢了国王的个人助理伯拉斯。这个代表团希望向希律求和,因为这两地在粮食供应商都依赖希律的国家。
Kerode yali anyiigidde abantu b’e Ttuulo n’e Sidoni. Awo ne bamuweereza ababaka baabwe okujja okumulaba, ne bakwana omuwandiisi we Bulasito, era n’abayamba okubatuusiza ensonga zaabwe ewa Kerode nga bamusaba emirembe, kubanga emmere eyali eriisa ebibuga byabwe byombi yali eva mu nsi ya kabaka.
21 到了约定见面的日期,希律穿上国王的长袍,坐在王座上,向众人讲话。
Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode n’ayambala eminagiro gye egy’obwakabaka n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ayogera eri ababaka n’abantu bonna.
22 人群中有人大声说:“这是上帝的声音,不是人的声音!”
Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!”
23 但由于他没有将荣耀归于上帝,主的使者将他击倒。 他被虫吃掉了,死了。
Amangwago malayika wa Mukama n’amubonereza, n’ajjula envunyu yenna, ne zimulya n’afa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, n’atawa Katonda kitiibwa.
24 但上帝之道却开始传播,信徒的数量越来越多。
Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna wonna.
25 巴拿巴和扫罗完成了送捐款的任务,就带着约翰(马克)从耶路撒冷返回。
Balunabba ne Sawulo bwe baamala okutuukiriza ekyabaleeta mu Yerusaalemi, ne baddayo ne Yokaana ayitibwa Makko.

< 使徒行传 12 >