< 彼得前书 1 >

1 这封信来自耶稣基督的使徒彼得,写给已被上帝选择之人:那些散落流放在本都、加拉太、加帕多家、亚西亚和庇推尼的人。
Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abalonde ba Katonda, abaasaasaanira mu Ponto, ne mu Ggalatiya ne mu Kapadokiya, ne mu Asiya ne mu Bisuniya,
2 你们被父上帝以其智慧而选中,是灵让你们圣洁,这样你们就可以听从耶稣基督,被他的血撒过。愿你们拥有更多的恩典与平安!
Katonda Kitaffe be yasooka okumanya ne batukuzibwa Omwoyo olw’okugondere Yesu Kristo, era ne balongoosebwa n’omusaayi ggwe, ogwabamansirwako. Ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe.
3 赞美上帝,我们主耶稣基督之父!通过他伟大的怜悯,我们得以重生;借着耶稣基督死而复生我们被赋予永生的希望。
Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu.
4 这传承是永恒的,永远不会朽坏或消失,会为你们在天堂中安全地保留着。
Bw’atyo n’atusuubiza omugabo mu busika, ogw’olubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gw’atuterekedde mu ggulu.
5 通过你们对上帝的信任,上帝会用他的能力保护你们,直到救赎到来——那是已经准备好在末日显化的救赎。
Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olw’okukkiriza kwammwe, n’abatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro eby’enkomerero.
6 因此,你们要为之欢喜。但你们现今经历各种考验的时候,或许暂时会感到难过。
Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera.
7 这些都证明了你们对上帝的信任是真实的,就像用火来证明是否真金,但即使是金子也可以被摧毁,你们的信比金子更有价值!通过这种方式,你们对上帝的信任就会获得认可,当耶稣基督出现时,你们会得到赞美、光荣和尊崇。
Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako.
8 你们虽然没有见过他,却爱他;现在虽然不能看见他,却信他。所以,你们充满了无法形容、美妙的幸福。
Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza,
9 你们信他的奖励,就是将会得到拯救。
era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kw’emyoyo gyammwe.
10 先知们说道为你们准备的恩典时,他们寻找和研究的也正是这样的救赎。
Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa.
11 他们试图找出救赎将在何时以何种方式发生,因为他们中基督的灵,清楚讲述了基督将要遭受的苦难和获得的荣耀。
Omwoyo wa Kristo ng’ali mu bo, yategeeza eby’omu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era n’ekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako n’ekiseera we kirituukira.
12 他们听到的解释是:他们这样做并非为了自己,而是为了你们。因为他们所讲的,你现在已经从那些通过上天派来的圣灵与你分享好消息的人那里学到了。就连天使也急于知道这一切!
Bannabbi bano Katonda yabalaga nti ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino by’ebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.
13 你们的思想务必要准备好。保持头脑清醒。把希望完全寄托于你们在耶稣显化时将会获得的恩典。
Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika.
14 像那些按照他们吩咐去做的孩子一样生活。当你不知道何为更好,不要让那时候的罪恶欲望左右你们。
Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okw’edda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya.
15 现在你们做的每一件事都要是圣洁的,就像那召唤你的人就是圣洁的。
Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola.
16 因为经书说:“你们要圣洁,因为我是圣洁的。”
Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
17 既然你们称他为父,意识到他会根据每个人的所作所为公正评判每个人,请认真对待你们在地球上的时间,尊重他。
Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno.
18 你们已经知道,你们并没有摆脱从祖先那里继承的无意义生活方式,这些都是是没有持久价值的东西,比如金银。
Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu.
19 你们因基督宝贵的血而获得自由,他就像一只没有瑕疵或缺陷的羔羊。
Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala.
20 基督是在创世之前被上帝所挑选,却会在这末世为你们的好而显化。
Kristo yategekebwa dda nga n’ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita n’alabisibwa ku lwammwe.
21 通过他,你们信那让基督死而复生并让他荣耀的上帝,这样你们就可以对上帝有信心,有希望。
Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, n’amuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe n’okusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.
22 既然你们已经按照真理奉献了自己,那就像真正的家人一样真诚地相爱。
Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa.
23 你已经重生了,不是必死的 “种子” 的产物,而是不死的种子,通过神的活的、永恒的话语 (aiōn g165)
Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. (aiōn g165)
24 因为:“所有人皆如草,他们的荣光如野花;草必枯干,花必凋谢,
Kubanga, “Abantu bonna bali ng’omuddo, n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
25 但只有主的道,永远长存。”这就是向你们解释的福音。 (aiōn g165)
Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.” Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa. (aiōn g165)

< 彼得前书 1 >