< Titus 2 >
1 I wu u ka hla njaaji ilan.
Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu.
2 Gbi bi ciche lila du mba hi he vutu bey vu sunro be toh jaji ni mi kpakyeme ni itere u Irji.
Kubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala n’okugumiikiriza.
3 Na ki imba be niko be ka vutu bi bana be tere totona du bana so ima u tehuwa na.
Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi,
4 Du ba tsoro imba be tsitsama itere sunko wa balilo.
balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe.
5 Du mba hi be mlaya mba komba bata tee naki itere Irji a ni bi kerekereme.
Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.
6 Na ki u ka hla imirize du mba hey be sisuron.
N’abavubuka bakubirizenga babe beegendereza,
7 Ko ni konrime u ka zeren dedeme.
mu bintu byonna, ng’obeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna by’okola, ng’oli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo.
8 Hla tere be dedema. bewa bana toh itere Irji na Ishan ka temba.
Buli ky’oyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.
9 I miri ko mba wo tere ni tei komba ni mi kogeh mba na sunyu ni mbana.
Era kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe era babagonderenga mu byonna, nga tebabawakanya,
10 Du ba na tee yibi na. Mba ka ji kpakyeme U Irji gbahgbah me.
wadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.
11 U imiri Irji ba toh didima wawumba.
Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise,
12 Ani hla du keh ka memetee u gbu gblu tagah. (aiōn )
era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; (aiōn )
13 Keh ta zere di ta gbey tee lulu ni ze sunro u ye ivere Irji tee bu.
nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
14 Yesu a kpa hla tere u bu ni gbu gblu da ikheu ubu wawu. na ki khi ka hu hla terema.
eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
15 U ka tere ni gbe gble de tshoro ba jaji ndah na kpa u tsirina.
Ebyo by’obanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.