< ܒ-ܛܝܡܬܐܘܣ 4 >

ܡܤܗܕ ܐܢܐ ܠܟ ܩܕܡ ܐܠܗܐ ܘܡܪܢ ܝܫܘܥ ܡܫܝܚܐ ܗܘ ܕܥܬܝܕ ܠܡܕܢ ܚܝܐ ܘܡܝܬܐ ܒܓܠܝܢܐ ܕܡܠܟܘܬܗ 1
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe,
ܐܟܪܙ ܡܠܬܐ ܘܩܘܡ ܒܚܦܝܛܘܬܐ ܒܙܒܢܐ ܘܕܠܐ ܙܒܢܐ ܐܟܤ ܘܟܘܢ ܒܟܠܗ ܡܓܪܬ ܪܘܚܐ ܘܝܘܠܦܢܐ 2
buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza.
ܢܗܘܐ ܓܝܪ ܙܒܢܐ ܕܠܝܘܠܦܢܐ ܚܠܝܡܐ ܠܐ ܢܫܬܡܥܘܢ ܐܠܐ ܐܝܟ ܪܓܝܓܬܗܘܢ ܢܤܓܘܢ ܠܢܦܫܗܘܢ ܡܠܦܢܐ ܒܚܘܬܚܬܐ ܕܡܫܡܥܬܗܘܢ 3
Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira.
ܘܡܢ ܫܪܪܐ ܢܗܦܟܘܢ ܐܕܢܗܘܢ ܠܫܘܥܝܬܐ ܕܝܢ ܢܤܛܘܢ 4
Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo.
ܐܢܬ ܕܝܢ ܗܘܝܬ ܥܝܪ ܒܟܠܡܕܡ ܘܤܝܒܪ ܒܝܫܬܐ ܘܥܒܕܐ ܥܒܕ ܕܡܤܒܪܢܐ ܘܬܫܡܫܬܟ ܫܠܡ 5
Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.
ܐܢܐ ܓܝܪ ܡܟܝܠ ܡܬܢܩܐ ܐܢܐ ܘܙܒܢܐ ܕܐܫܬܪܐ ܡܛܐ 6
Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse.
ܐܓܘܢܐ ܫܦܝܪܐ ܐܬܟܬܫܬ ܘܪܗܛܝ ܫܠܡܬ ܘܗܝܡܢܘܬܝ ܢܛܪܬ 7
Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange.
ܘܡܢ ܗܫܐ ܢܛܝܪ ܠܝ ܟܠܝܠܐ ܕܟܐܢܘܬܐ ܕܢܦܪܥܝܘܗܝ ܠܝ ܡܪܝ ܒܝܘܡܐ ܗܘ ܕܗܘܝܘ ܕܝܢܐ ܟܐܢܐ ܠܐ ܕܝܢ ܒܠܚܘܕ ܠܝ ܐܠܐ ܐܦ ܠܐܝܠܝܢ ܕܐܚܒܘ ܠܓܠܝܢܗ 8
Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.
ܢܬܒܛܠ ܠܟ ܕܬܐܬܐ ܠܘܬܝ ܒܥܓܠ 9
Fuba okujja amangu gye ndi.
ܕܡܐ ܓܝܪ ܫܒܩܢܝ ܘܐܚܒ ܥܠܡܐ ܗܢܐ ܘܐܙܠ ܠܗ ܠܬܤܠܘܢܝܩܐ ܩܪܤܩܘܤ ܠܓܠܛܝܐ ܛܛܘܤ ܠܕܠܡܛܝܐ (aiōn g165) 10
Kubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya. (aiōn g165)
ܠܘܩܐ ܗܘ ܒܠܚܘܕܘܗܝ ܥܡܝ ܠܡܪܩܘܤ ܕܒܪ ܘܐܝܬܝܗܝ ܥܡܟ ܥܗܢ ܠܝ ܓܝܪ ܠܬܫܡܫܬܐ 11
Lukka yekka y’ali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza.
ܠܛܘܟܝܩܘܤ ܕܝܢ ܫܕܪܬ ܠܐܦܤܘܤ 12
Tukiko n’amutuma mu Efeso.
ܒܝܬ ܟܬܒܐ ܕܝܢ ܕܫܒܩܬ ܒܛܪܘܐܘܤ ܠܘܬ ܩܪܦܘܤ ܡܐ ܕܐܬܐ ܐܢܬ ܐܝܬܝܗܝ ܘܟܬܒܐ ܝܬܝܪܐܝܬ ܟܪܟܐ ܕܡܓܠܐ 13
Bw’obanga ojja ondeeteranga omunagiro gwange gwe naleka e Tulowa ewa Kappo. Ondeeteranga n’emizingo gy’ebitabo, na ddala egyo egy’amaliba.
ܐܠܟܤܢܕܪܤ ܩܝܢܝܐ ܒܝܫܬܐ ܤܓܝܐܬܐ ܚܘܝܢܝ ܦܪܥ ܠܗ ܡܪܢ ܐܝܟ ܥܒܕܘܗܝ 14
Alegezanda, omuweesi w’ebikomo yankola ebyettima bingi. Mukama alimusasula olw’ebikolwa bye.
ܐܦ ܐܢܬ ܕܝܢ ܐܙܕܗܪ ܡܢܗ ܛܒ ܓܝܪ ܙܩܝܦ ܠܘܩܒܠ ܡܠܝܢ 15
Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe.
ܒܡܦܩ ܒܪܘܚܝ ܩܕܡܝܐ ܠܐ ܐܢܫ ܗܘܐ ܥܡܝ ܐܠܐ ܟܠܗܘܢ ܫܒܩܘܢܝ ܠܐ ܬܬܚܫܒ ܠܗܘܢ ܗܕܐ 16
Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa.
ܡܪܝ ܕܝܢ ܩܡ ܠܝ ܘܚܝܠܢܝ ܕܒܝ ܟܪܘܙܘܬܐ ܬܫܬܠܡ ܘܢܫܡܥܘܢ ܥܡܡܐ ܟܠܗܘܢ ܕܐܬܦܨܝܬ ܡܢ ܦܘܡܐ ܕܐܪܝܐ 17
Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma.
ܘܢܦܨܝܢܝ ܡܪܝ ܡܢ ܟܠ ܥܒܕ ܒܝܫ ܘܢܚܝܢܝ ܒܡܠܟܘܬܗ ܕܒܫܡܝܐ ܕܠܗ ܫܘܒܚܐ ܠܥܠܡ ܥܠܡܝܢ ܐܡܝܢ (aiōn g165) 18
Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
ܗܒ ܫܠܡܐ ܠܦܪܝܤܩܠܐ ܘܠܐܩܠܘܤ ܘܠܒܝܬܐ ܕܐܢܤܝܦܘܪܘܤ 19
Nnamusiza Pulisika ne Akula n’ab’omu maka ga Onesifolo.
ܐܪܤܛܘܤ ܦܫ ܠܗ ܒܩܘܪܢܬܘܤ ܛܪܘܦܝܡܘܤ ܕܝܢ ܫܒܩܬܗ ܟܕ ܟܪܝܗ ܒܡܝܠܝܛܘܤ ܡܕܝܢܬܐ 20
Erasuto yasigalayo mu Kkolinso, ate Tulofiimo namuleka mu Mireeto nga mulwadde.
ܢܬܒܛܠ ܠܟ ܕܩܕܡ ܤܬܘܐ ܬܐܬܐ ܫܐܠ ܒܫܠܡܟ ܐܘܒܘܠܘܤ ܘܦܘܕܤ ܘܠܝܢܘܤ ܘܩܠܘܕܝܐ ܘܐܚܐ ܟܠܗܘܢ 21
Fuba ojje ng’ebiseera by’obutiti tebinnaba kutuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n’abooluganda bonna.
ܡܪܢ ܝܫܘܥ ܡܫܝܚܐ ܥܡ ܪܘܚܟ ܛܝܒܘܬܐ ܥܡܟ ܐܡܝܢ 22
Mukama waffe abeerenga n’omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

< ܒ-ܛܝܡܬܐܘܣ 4 >