< 2 Reyes 4 >
1 Una mujer de las mujeres de los hijos de los profetas clamó a Eliseo, diciendo: Tu siervo mi marido es muerto: y tú sabes que tu siervo era temeroso de Jehová: y ha venido el acreedor para tomarse dos hijos míos por siervos.
Awo olwatuuka ne wabaawo nnamwandu, eyali afumbiddwa omu ku abo abaali mu kibiina kya bannabbi, n’agenda eri Erisa ng’akaaba n’amugamba nti, “Omuddu wo, baze yafa, era omanyi nga omuddu wo yatyanga Mukama. Naye kaakano eyali amubanja azze, ng’ayagala okutwala batabani bange okubafuula abaddu be.”
2 Y Eliseo le dijo: ¿Qué te haré yo? declárame que tienes en casa. Y ella dijo: Tu sierva ninguna cosa tiene en casa, sino una botija de aceite.
Erisa n’amuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” N’amugamba nti, “Omuweereza wo ky’alinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta otutono ennyo.”
3 Y él le dijo: Vé, y demándate vasos emprestados de todos tus vecinos, vasos vacíos, no pocos.
Erisa n’amugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala.
4 Y entra y cierra la puerta tras ti, y tras tus hijos: y echa en todos los vasos, y en estando uno lleno, pónlo a parte.
Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ng’ekijjula ky’ossa wa bbali.”
5 Y partió la mujer de él, y cerró la puerta tras sí y tras sus hijos, y ellos le llegaban los vasos, y ella echaba del aceite.
Bwe yava waali n’addayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye n’abaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bw’attulula.
6 Y como los vasos fueron llenos, dijo a su hijo: Llégame aun otro vaso. Y él dijo: No hay más vasos. Entonces el aceite cesó.
Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, n’agamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye n’amuddamu nti, “Biweddeyo.” Awo amafuta ne gakoma.
7 Y ella vino, y díjolo al varón de Dios; el cual le dijo: Vé, y vende este aceite, y paga a tus acreedores: y tú y tus hijos vivíd de lo que quedare.
Amangwago nnamwandu n’addayo ew’omusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.”
8 Aconteció también, que un día Eliseo pasaba por Suna: y había allí una mujer principal, la cual le constriñó a que comiese del pan: y así cuando pasaba por allí, veníase a su casa a comer del pan.
Awo olwatuuka Erisa n’agenda e Sunemu. Mu Sunemu mwalimu omukazi nnaggagga, eyamwegayirira alye ku mmere ey’omu nnyumba ye. Awo olwatuuka, buli lwe yayitangawo, n’akyamira eyo okulya ku mmere.
9 Y ella dijo a su marido: He aquí, ahora yo entiendo que este, que siempre pasa por nuestra casa, es varón de Dios santo.
Omukazi n’agamba bba nti, “Laba kimbikkuliddwa nti oyo musajja wa Katonda, atera okuyitira wano.
10 Yo te ruego que hagamos una pequeña cámara de paredes, y pongamos en ella cama, y mesa, y silla, y candelero, para que cuando viniere a nuestra casa, se recoja en ella.
Kale nno katumutegekere ekisenge waggulu, tumuteekereyo ekitanda n’emmeeza, n’entebe, n’ettabaaza by’anaakozesanga ng’azze okutukyalira.”
11 Y aconteció, que un día él vino por allí, y recogióse en aquella cámara, y durmió en ella.
Lumu, Erisa n’akyalayo, n’agenda mu kisenge kye, n’awummulirako eyo.
12 Entonces dijo a Giezi su criado: Llama a esta Sunamita. Y como él la llamó, ella pareció delante de él.
N’agamba omuweereza we Gekazi nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita, n’ajja n’ayimirira mu maaso ge.
13 Y él le dijo: Díle: He aquí, tú has estado solícita por nosotros en todo este cuidado: ¿qué quieres que haga por ti? ¿Has menester que hable por ti al rey, o al general del ejército? Y ella respondió: Yo habito en medio de mi pueblo.
Erisa n’agamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ew’omuduumizi w’eggye ku nsonga yonna?’” N’amuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”
14 Y él dijo: ¿Qué pues haremos por ella? Y Giezi respondió: He aquí ella no tiene hijo, y su marido es viejo.
Erisa n’abuuza Gekazi nti, “Kiki ekiba kimukolerwa?” Gekazi n’addamu nti, “Laba talina mwana, ate ng’akaddiye.”
15 Y él dijo: Llámala: y él la llamó: y ella se paró a la puerta.
Erisa n’amugamba nti, “Muyite.” Bwe yamuyita, n’ajja n’ayimirira mu mulyango.
16 Y él le dijo: A este tiempo según el tiempo de la vida, abrazarás un hijo. Y ella dijo: No señor mío, varón de Dios, no hagas burla de tu sierva.
Erisa n’amugamba nti, “Omwaka ogujja, mu biro ng’ebya kaakano oliwambaatira omwana owoobulenzi.” Omukyala n’amuddamu nti, “Nedda mukama wange, tolimba muweereza wo, ayi omusajja wa Katonda.”
17 Y la mujer concibió, y parió un hijo a aquel mismo tiempo que Eliseo le había dicho, según el tiempo de la vida.
Naye oluvannyuma omukazi n’aba olubuto, era omwaka ogwaddirira mu biro bye bimu, n’azaala omwana wabulenzi, nga Erisa bwe yali amugambye.
18 Y como el niño fue grande aconteció, que un día salió a su padre a los segadores.
Omwana n’akula, naye olunaku lumu n’addukira ewa kitaawe eyali mu nnimiro n’abakunguzi.
19 Y dijo a su padre: Mi cabeza, mi cabeza. Y él dijo a un criado: Llévale a su madre.
N’amutegeeza nti, “Omutwe gunnuma, omutwe gunnuma!” Kitaawe n’agamba omu ku baddu be nti, “Mutwalire maama we.”
20 Y como él le tomó, y le trajo a su madre, estuvo sentado sobre sus rodillas hasta mediodía, y murióse.
Awo omuddu n’amusitula n’amutwala eri nnyina, omwana n’atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa essaawa ey’omu ttuntu n’oluvannyuma n’afa.
21 Ella entonces subió, y púsole sobre la cama del varón de Dios: y cerró la puerta sobre él, y salió:
Nnyina n’asitula omulambo gwe, n’agutwala waggulu n’aguteeka ku kitanda eky’omusajja wa Katonda, n’afuluma, n’aggalawo oluggi.
22 Y llamando a su marido, díjole: Ruégote que envíes conmigo a alguno de los criados, y una de las asnas, para que yo vaya corriendo al varón de Dios, y vuelva.
N’atumira bba ng’agamba nti, “Mpayo omuddu omu n’endogoyi emu ŋŋende mangu ew’omusajja wa Katonda, nkomewo.”
23 Y él dijo: ¿Para qué has de ir a él hoy? no es nueva luna ni sábado. Y ella respondió: Paz.
N’amubuuza nti, “Kiki ekikutwala gy’ali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi n’amuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.”
24 E hizo enalbardar un asna, y dijo al mozo: Guia y anda, y no me hagas detener para que suba, sino cuando yo te lo dijere.
Ne yeebagala endogoyi, n’agamba omuddu we nti, “Ggwe kulemberamu, totta ku bigere wabula nga nkugambye.”
25 Y partiéndose vino al varón de Dios al monte del Carmelo, y cuando el varón de Dios la vio de lejos, dijo a su criado Giezi: He allí la Sunamita.
Ne basitula, n’agenda eri omusajja wa Katonda ku Lusozi Kalumeeri. Omusajja wa Katonda bwe yamuleengera ng’akyali walako, n’agamba omuddu we Gekazi nti, “Laba, Omusunammu wuuli!
26 Yo te ruego que vayas ahora corriendo a recibirla, y díle: ¿Tienes paz, y tu marido, y tu hijo? Y ella dijo: Paz.
Dduka omusisinkane omubuuze nti, ‘Oli bulungi ne balo ali bulungi? Ate omwana?’” Omukazi n’amuddamu nti, “Kiri bulungi.”
27 Y ella vino al varón de Dios en el monte, y asió de sus pies, y llegó Giezi para quitarla: mas el varón de Dios le dijo: Déjala; porque su alma está en amargura, y Jehová me lo ha encubierto, y no me lo ha revelado.
Bwe yatuuka okumpi n’olusozi awaali omusajja wa Katonda, n’agwa wansi ne yeenyweza ku bigere by’omusajja wa Katonda. Amangwago Gekazi n’ajja ng’ayagala okumugobawo, naye omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Muleke! Kubanga ali mu nnaku nnyingi nnyo, ate nga Mukama tannambikkulira nsonga, wadde okugintegeeza.”
28 Y ella dijo: ¿Pedí yo hijo a mi señor? ¿No dije yo, que no burlases de mi?
Omukazi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Nakusaba omwana, mukama wange? Saakugamba obutansuubiza ekisukkiridde?”
29 Entonces él dijo a Giezi: Ciñe tus lomos, y toma mi bordón en tu mano, y vé, y si alguno te encontrare, no le saludes, y si alguno te saludare, no le respondas. Y pondrás mi bordón sobre el rostro del niño.
Erisa n’agamba Gekazi nti, “Weesibe ekimyu, okwate omuggo gwange otambule mangu nnyo nga bw’osobola. Bw’onoosisinkana omuntu yenna mu kkubo tomulamusa, ate bw’akulamusa tomwanukula. Ddira omuggo gwange ogugalamize ku kyenyi ky’omwana.”
30 Entonces dijo la madre del niño: Vive Jehová, y vive tu alma, que no te dejaré.
Naye nnyina w’omwana n’agamba nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuleka mabega.” Erisa n’asituka n’amugoberera.
31 Él entonces se levantó, y siguióla. Y Giezi había ido delante de ellos, y había puesto el bordón sobre el rostro del niño, mas ni tenía voz ni sentido, y así se había vuelto para encontrar a Eliseo, y declaróselo, diciendo: El mozo no despierta.
Gekazi ye n’abakulemberamu, n’agenda n’ateeka omuggo ku kyenyi ky’omulenzi, naye ne wataba kanyego newaakubadde okuddamu. Amangwago Gekazi n’addayo n’asisinkana Erisa, n’amutegeeza nti, “Omwana tagolokose.”
32 Y venido Eliseo a la casa, he aquí el niño que estaba tendido muerto sobre su cama.
Awo Erisa n’atuuka ku nnyumba, n’agenda butereevu mu kisenge gye yasanga omulambo gw’omwana nga gugalamiziddwa ku kitanda kye.
33 Y entrando él, cerró la puerta sobre ambos, y oró a Jehová.
N’ayingira ekisenge, ne yeggalirayo, n’atandika okusaba Mukama.
34 Y subió, y echóse sobre el niño, poniendo su boca sobre la boca de él, y sus ojos sobre los ojos de él, y sus manos sobre las manos de él: y así se tendió sobre él, y la carne del mozo se calentó.
N’alinnya waggulu ku kitanda n’agalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, n’emikono ku mikono eby’omulambo. Mu kiseera ekyo ng’akyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira.
35 Y volviendo paseóse por casa a una parte y a otra, y después subió, y tendióse sobre él, y el mozo estornudó siete veces, y abrió sus ojos.
Erisa n’ayimuka, n’atambulatambula mu kisenge, n’oluvannyuma n’addamu n’agalamira ku mulambo. Omulenzi n’ayasimula emirundi musanvu, omulenzi n’azibula amaaso ge.
36 Entonces él llamó a Giezi, y díjole: Llama a esta Sunamita. Y él la llamó: y entrando ella, él le dijo: Toma tu hijo.
Awo Erisa n’ayita Gekazi n’amugamba nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita. Omusunammu bwe yajja n’amugamba nti, “Situla omwana wo.”
37 Y ella entró, y echóse a sus pies, e inclinóse a tierra, y tomó su hijo, y se salió.
Omukazi n’ayingira, n’avuunama ku bigere bya Erisa, n’asitula omwana we n’afuluma.
38 Y volvióse Eliseo a Gálgala. Y hubo grande hambre en la tierra. Entonces los hijos de los profetas estaban con él: y dijo a su criado: Pon una grande olla, y haz potaje para los hijos de los profetas.
Oluvannyuma, Erisa ng’azeeyo e Girugaali, ate nga mu kiseera kye kimu enjala egudde mu nsi, ekibiina kya bannabbi ne bakuŋŋaanira ewuwe. N’agamba omuweereza we nti, “Abaana ba bannabbi bafumbireyo enva mu ntamu ennene.”
39 Y salió uno al campo a coger yerbas: y halló una parra montés, y cogió de ella uvas monteses su ropa llena: y volvió, y cortólas en la olla del potaje: porque no sabían lo que era.
Omu ku bo n’alaga mu nnimiro n’anoga amaboga, n’alaba n’omuzabbibu ogw’omu nsiko, n’anoga ku bibala byagwo ebiwera, n’assa mu lugoye lwe. N’addayo n’abisalirasalira mu ntamu ey’enva. Teyamanya nga bye yanoga birimu akabi.
40 Y echó de comer a los varones: y fue que comiendo ellos de aquel guisado, dieron voces, diciendo: Varón de Dios, la muerte en la olla. Y no lo pudieron comer.
Buli muntu ne bamusenera ku nva; naye bwe baaziryako, ne bayogerera waggulu nti, “Omusajja wa Katonda mu ntamu mulimu okufa.” Ne batazirya.
41 El entonces dijo: Traed harina. Y esparcióla en la olla, y dijo: Echa de comer al pueblo. Y no hubo más mal en la olla.
Erisa n’agamba nti, “Mundeetereyo obuwunga.” Ne babumuleetera n’abuteeka mu ntamu y’enva, n’abagamba nti, “Mugabule abantu balye.” Ne wataba kabi mu ntamu y’enva.
42 Ítem, un varón vino de Baal-salisa, el cual trajo al varón de Dios, panes de primicias, veinte panes de cebada, y espigas de trigo nuevo en su espiga. Y él dijo: Da al pueblo, y coman.
Waaliwo omusajja eyava e Baalusalisa, n’aleetera omusajja wa Katonda emigaati egya sayiri kumi n’ebiri nga mmere ey’okubibala ebibereberye, ate era n’amuleetera n’ebirimba eby’eŋŋaano embisi. Erisa n’agamba omuweereza we nti, “Bigabire abantu babirye.”
43 Y respondió el que le servía: ¿Cómo pondré esto delante de cien varones? Y él tornó a decir: Da al pueblo, y coman: porque Jehová dijo así: Comerán, y sobrará.
Omuweereza we n’amuddamu nti, “Bino mbigabula ntya abantu ekikumi?”
44 Entonces él lo puso delante de ellos: y comieron, y sobróles conforme a la palabra de Jehová.
Naye Erisa n’amuddamu nti, “Bigabire abantu babirye, kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Banaalya ne bibalemeranawo.’” N’abibagabula, ne balya, ne bibalemeranawo, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.