< Второзаконие 26 >

1 И будет аще внидеши в землю, юже Господь Бог твой дает тебе в жребий еже наследити ю, и вселишися на ней,
Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi,
2 и да возмеши от начатка плодов земли твоея, юже Господь Бог твой дает тебе в жребий, и вложиши в кошницу, и пойдеши на место, еже изберет Господь Бог твой призывати имя Его тамо:
oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye.
3 и приидеши к жерцу, иже будет в тыя дни, и речеши к нему: возвещаю днесь Господеви Богу твоему, яко внидох в землю, еюже клятся Господь отцем нашым дати нам:
Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.”
4 и да возмет жрец от руку твоею кошницу и да положит ю пред олтарем Господа Бога твоего:
Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya Mukama Katonda wo.
5 и отвещав речеши пред Господем Богом твоим: Сирию остави отец мой и сниде во Египте и обита тамо в числе малем, и бысть тамо в язык велик и во множество много и велико:
Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo.
6 и озлобиша нас Египтяне, и смириша ны, и возложиша на ны дела жестокая:
Naye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu.
7 и возопихом ко Господу Богу отец наших, и услыша Господь вопль наш и виде смирение наше и труд наш и скорбь нашу,
Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna.
8 и изведе ны Господь из Египта Сам крепостию Своею великою и рукою сильною и мышцею высокою, и в видениих великих и в знамениих и в чудесех,
Bw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo.
9 и введе ны в место сие, и даде нам землю сию, землю кипящую медом и млеком:
Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki.
10 и ныне се, принесох начатки от плодов земли, юже дал ми еси, Господи, землю кипящую медом и млеком. И оставиши е пред Господем Богом твоим, и поклонишися тамо пред Господем Богом твоим,
Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge.
11 и возвеселишися о всех благих, яже даде тебе Господь Бог твой, и дом твой, и левит, и пришлец иже у тебе.
Kale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna.
12 Егда же совершиши одесятити всю десятину плодов земли твоея в лето третие, вторую десятину да даси левиту и пришелцу и сироте и вдове, и ядят во градех твоих и насытятся:
Mu mwaka ogwokusatu bw’onoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu eky’ekkumi n’okissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogw’ekitundu eky’ekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo n’okiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta.
13 и речеши пред Господем Богом твоим: очистих святая из дому моего, и дах я левиту и пришелцу и сироте и вдове, по всем заповедем Твоим, яже заповедал еси мне: не преступих заповеди Твоея и не забых,
Awo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu eky’ekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira n’ekimu ku byo.
14 и не ядох в болезни моей от них, не принесох от них в нечистое, ниже дах от них умершему: послушах гласа Господа Бога моего, сотворих, якоже заповедал еси мне:
Ekitundu ekyo sikiriddeeko nga ndi mu biseera eby’okukungubaga, wadde okukikwatako nga siri mulongoofu, era sikitoddeeko ne mpaayo eri abafu. Ŋŋondedde Mukama Katonda wange, ne nkola nga bwe yandagira.
15 призри с небесе от храма святаго Твоего, и благослови люди Твоя Израиля и землю, юже дал еси им якоже клялся еси отцем нашым, дати нам землю кипящую медом и млеком.
Otutunuulire ng’osinziira mu kifo kyo ekitukuvu gy’obeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri n’ensi gy’otuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga y’ensi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”
16 В сей день заповеда тебе Господь Бог твой сотворити вся оправдания сия и судбы: и сохраните и сотворите я от всего сердца вашего и от всея души вашея.
Mukama Katonda wo akulagira leero okugonderanga amateeka ago gonna n’ebiragiro ebyo; noolwekyo obigonderanga byonna n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna.
17 Господа избрал еси днесь быти тебе в Бога, и ходити во всех путех Его и хранити оправдания и заповеди и судбы Его, и послушати гласа Его.
Ku lunaku lwa leero oyatudde nga Mukama bw’ali Katonda wo, era nga naawe bw’onootambuliranga mu makubo ge, era ng’onookuumanga ebiragiro bye n’amateeka ge gonna, era ng’onoomugonderanga.
18 И Господь избра вас днесь, да будете Ему люди избраннии, якоже рече тебе, хранити вся заповеди Его,
Ku lunaku lwa leero Mukama alangiridde nga bw’oli owuwe, eggwanga lye ku bubwe ery’omuwendo omungi nga bwe yasuubiza, era nga ojjanga kukwatanga ebiragiro bye byonna.
19 и быти тебе вышше всех язык, иже сотвори тя именита и хвальна и славна, быти вам людем святым Господу Богу вашему, якоже глагола.
Alangiridde nga bw’anaakujjuzanga ettendo n’okwatiikirira n’ekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ng’olibeera eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yasuubiza.

< Второзаконие 26 >