< Okubikkulirwa 16 >
1 Awo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.”
2 Malayika eyasooka n’ava mu Yeekaalu n’ayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero k’ekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.
3 Malayika owookubiri n’ayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ng’omusaayi gw’omuntu amaze ekiseera ekitono ng’afudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.
4 Malayika owookusatu n’ayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo z’amazzi, byonna ne bifuuka ng’omusaayi.
5 Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ng’ayogera nti, “Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu, aliwo era eyaliwo, kubanga bw’otyo bwe wasala omusango.
6 Olw’okubanga baayiwa omusaayi gw’abatukuvu ne bannabbi, ogwo gwe musaayi gw’obawadde okunywa.”
7 Awo ne mpulira ekyoto ng’akyogera nti, “Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”
8 Awo malayika owookuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba, n’evaamu omuliro ne gwokya abantu.
9 Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.
10 Awo malayika owookutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe ey’obufuzi bw’ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. N’abo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji,
11 ne bavvoola Katonda ow’eggulu olw’obulumi bwe baalimu, n’amabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.
12 Awo malayika ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka ab’ebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe.
13 Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba.
14 Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.
15 “Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”
16 Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.
17 Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.”
18 Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi.
19 Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda.
20 Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako.
21 N’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.