< Zabbuli 23 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
מִזְמֹ֥ור לְדָוִ֑ד יְהוָ֥ה רֹ֝עִ֗י לֹ֣א אֶחְסָֽר׃
2 Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu.
בִּנְאֹ֣ות דֶּ֭שֶׁא יַרְבִּיצֵ֑נִי עַל־מֵ֖י מְנֻחֹ֣ות יְנַהֲלֵֽנִי׃
3 Akomyawo emmeeme yange. Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu olw’erinnya lye.
נַפְשִׁ֥י יְשֹׁובֵ֑ב יַֽנְחֵ֥נִי בְמַעְגְּלֵי־צֶ֝֗דֶק לְמַ֣עַן שְׁמֹֽו׃
4 Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa.
גַּ֤ם כִּֽי־אֵלֵ֨ךְ בְּגֵ֪יא צַלְמָ֡וֶת לֹא־אִ֘ירָ֤א רָ֗ע כִּי־אַתָּ֥ה עִמָּדִ֑י שִׁבְטְךָ֥ וּ֝מִשְׁעַנְתֶּ֗ךָ הֵ֣מָּה יְנַֽחֲמֻֽנִי׃
5 Onsosootolera emmere abalabe bange nga balaba; onsiize amafuta ku mutwe, ekikompe kyange kiyiwa.
תַּעֲרֹ֬ךְ לְפָנַ֨י ׀ שֻׁלְחָ֗ן נֶ֥גֶד צֹרְרָ֑י דִּשַּׁ֖נְתָּ בַשֶּׁ֥מֶן רֹ֝אשִׁ֗י כֹּוסִ֥י רְוָיָֽה׃
6 Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ez’obulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.
אַ֤ךְ ׀ טֹ֤וב וָחֶ֣סֶד יִ֭רְדְּפוּנִי כָּל־יְמֵ֣י חַיָּ֑י וְשַׁבְתִּ֥י בְּבֵית־יְ֝הוָ֗ה לְאֹ֣רֶךְ יָמִֽים׃

< Zabbuli 23 >