< Engero 19 >
1 Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.
ただしく歩むまづしき者は くちびるの悖れる愚なる者に愈る
2 Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya, n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.
心に思慮なければ善らず 足にて急ぐものは道にまよふ
3 Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe, kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.
人はおのれの痴によりて道につまづき 反て心にヱホバを怨む
4 Obugagga buleeta emikwano mingi, naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.
資財はおほくの友をあつむ されど貧者はその友に疎まる
5 Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa, era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.
虚偽の證人は罰をまぬかれず 謊言をはくものは避るることをえず
6 Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi, era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.
君に媚る者はおほし 凡そ人は贈物を與ふる者の友となるなり
7 Baganda b’omwavu bonna bamwewala, mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala? Wadde abagoberera ng’abeegayirira, naye tabalaba.
貧者はその兄弟すらも皆これをにくむ 況てその友これに遠ざからざらんや 言をはなちてこれを呼とも去てかへらざるなり
8 Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye, n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.
智慧を得る者はおのれの霊魂を愛す 聡明をたもつ者は善福を得ん
9 Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa, n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.
虚偽の證人は罰をまぬかれず 謊言をはく者はほろぶべし
10 Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya, kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?
愚なる者の驕奢に居るは適当からず 況て僕にして上に在る者を治むることをや
11 Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.
聡明は人に怒をしのばしむ 過失を宥すは人の榮誉なり
12 Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma, naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.
王の怒は獅の吼るが如く その恩典は草の上におく露のごとし
13 Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira, n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.
愚なる子はその父の災禍なり 妻の相争そふは雨漏のたえぬにひとし
14 Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde, naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
家と資財とは先組より承嗣ぐもの 賢き妻はヱホバより賜ふものなり
15 Obugayaavu buleeta otulo tungi, n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.
懶惰は人を酣寐せしむ 懈怠人は飢べし
16 Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe, naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.
誠命を守るものは自己の霊魂を守るなり その道をかろむるものは死ぬべし
17 Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.
貧者をあはれむ者はヱホバに貸すなり その施濟はヱホバ償ひたまはん
18 Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi, oleme kumuwaayo mu kuzikirira.
望ある間に汝の子を打て これを殺すこころを起すなかれ
19 Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe, kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.
然ることの烈しき者は罰をうく 汝もしこれを救ふともしばしば然せざるを得じ
20 Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa, oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.
なんぢ勧をきき訓をうけよ 然ばなんぢの終に智慧あらん
21 Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe; byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
人の心には多くの計畫あり されど惟ヱホバの旨のみ立べし
22 Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo, okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
人のよろこびは施濟をするにあり 貧者は謊人に愈る
23 Okutya Mukama kutuusa mu bulamu; olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.
ヱホバを畏るることは人をして生命にいたらしめ かつ恒に飽足りて災禍に遇ざらしむ
24 Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.
惰者はその手を盤にいるるも之をその口に挙ることをだにせず
25 Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye, buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.
嘲笑者を打て さらば拙者も愼まん 哲者を譴めよ さらばかれ知識を得ん
26 Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina, aleeta obuswavu n’obuyinike.
父を煩はし母を逐ふは羞赧をきたらし凌辱をまねく子なり
27 Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa, onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.
わが子よ哲者を離れしむる教を聴くことを息めよ
28 Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima, n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.
惡き證人は審判を嘲り 惡者の口は惡を呑む
29 Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi, n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.
審判は嘲笑者のために備へられ 鞭は愚なる者の背のために備へらる