< 2 Ebyomumirembe 1 >
1 Sulemaani mutabani wa Dawudi n’atebenkera ku bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali wamu naye, era n’amugulumiza nnyo.
大衛的兒子所羅門國位堅固;耶和華-他的上帝與他同在,使他甚為尊大。
2 Awo Sulemaani n’ayita Isirayiri yonna, n’atumya abaduumizi b’enkumi n’ab’ebikumi, n’abalamuzi, n’abakadde bonna mu Isirayiri yonna, n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajjaabwe.
所羅門吩咐以色列眾人,就是千夫長、百夫長、審判官、首領與族長都來。
3 Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda e Gibyoni eyali ekifo ku lusozi awaali Eweema ya Katonda ey’Okukuŋŋaanirangamu, Musa omuweereza wa Mukama gye yakuba, eyo mu ddungu.
所羅門和會眾都往基遍的邱壇去,因那裏有上帝的會幕,就是耶和華僕人摩西在曠野所製造的。
4 Naye Dawudi yali aggye essanduuko ya Katonda okuva e Kiriyasuyalimu, n’agitwala e Yerusaalemi gye yali agitegekedde ng’agizimbidde eweema.
只是上帝的約櫃,大衛已經從基列‧耶琳搬到他所預備的地方,因他曾在耶路撒冷為約櫃支搭了帳幕,
5 Era n’ekyoto eky’ekikomo Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yali azimbye, kyali eyo mu lusiisira lwa Mukama, ne Sulemaani n’ekibiina kyonna gye beebuulizanga ku Mukama.
並且戶珥的孫子、烏利的兒子比撒列所造的銅壇也在基遍耶和華的會幕前。所羅門和會眾都就近壇前。
6 Sulemaani n’ayambuka eri ekyoto eky’ekikomo n’alaga mu maaso ga Mukama mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
所羅門上到耶和華面前會幕的銅壇那裏,獻一千犧牲為燔祭。
7 Ekiro ekyo Katonda n’alabikira Sulemaani n’amugamba nti, “Saba kyonna ky’oyagala nkuwe.”
當夜,上帝向所羅門顯現,對他說:「你願我賜你甚麼,你可以求。」
8 Sulemaani n’addamu Katonda nti, “Olazze kitange Dawudi ekisa n’okwagala kungi nnyo, n’onfuula omusika we.
所羅門對上帝說:「你曾向我父大衛大施慈愛,使我接續他作王。
9 Kaakano, Mukama Katonda, kye wasuubiza kitange Dawudi, nsaba kituukirizibwe, kubanga onfudde kabaka ow’eggwanga eryenkana ng’enfuufu ku nsi mu bungi bwayo.
耶和華上帝啊,現在求你成就向我父大衛所應許的話;因你立我作這民的王,他們如同地上塵沙那樣多。
10 Ompe amagezi n’okumanya, ndyoke nkulembere abantu bano; kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino eddene bwe liti?”
求你賜我智慧聰明,我好在這民前出入;不然,誰能判斷這眾多的民呢?」
11 Katonda n’addamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, n’otosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate n’otosaba na buwangaazi, naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe,
上帝對所羅門說:「我已立你作我民的王。你既有這心意,並不求資財、豐富、尊榮,也不求滅絕那恨你之人的性命,又不求大壽數,只求智慧聰明好判斷我的民;
12 amagezi n’okumanya bikuweereddwa. Era nzija kukuwa obugagga, n’ebintu, n’ekitiibwa, ebitenkana ebyo bakabaka abaakusooka bye baalina, wadde abalijja ng’ovuddewo, bye balifuna.”
我必賜你智慧聰明,也必賜你資財、豐富、尊榮。在你以前的列王都沒有這樣,在你以後也必沒有這樣的。」
13 Awo Sulemaani n’ava mu maaso g’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu e Gibyoni n’addayo e Yerusaalemi. N’afuga Isirayiri.
於是,所羅門從基遍邱壇會幕前回到耶路撒冷,治理以色列人。
14 Sulemaani n’akuŋŋaanya amagaali n’abeebagala embalaasi; n’aba n’amagaali lukumi mu bina, n’abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby’amagaali, ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga.
所羅門聚集戰車馬兵,有戰車一千四百輛,馬兵一萬二千名,安置在屯車的城邑和耶路撒冷,就是王那裏。
15 Kabaka n’afuula effeeza ne zaabu okuba ebyabulijjo mu Yerusaalemi, nga bingi ng’amayinja; era n’afuula n’emivule okuba emingi ng’emisukamooli mu nsenyi.
王在耶路撒冷使金銀多如石頭,香柏木多如高原的桑樹。
16 Embalaasi za Sulemaani zaasubulibwanga okuva e Misiri, era abasuubuzi ba kabaka be baazigulangayo.
所羅門的馬是從埃及帶來的,是王的商人一群一群按着定價買來的。
17 Eggaali baagisuubulanga kilo musanvu eza ffeeza, embalaasi ne bagisuubulanga kilo emu ne desimoolo musanvu eza ffeeza okuva e Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka bonna ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.
他們從埃及買來的車,每輛價銀六百舍客勒,馬每匹一百五十舍客勒。赫人諸王和亞蘭諸王所買的車馬,也是按這價值經他們手買來的。