< 1 Samwiri 12 >
1 Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga.
사무엘이 온 이스라엘에게 이르되 `보라, 너희가 내게 한 말을 내가 다 듣고 너희 위에 왕을 세웠더니
2 Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero.
이제 왕이 너희 앞에 출입하느니라 보라, 나는 늙어 머리가 희었고 내 아들들도 너희와 함께 있느니라 내가 어려서부터 오늘날까지 너희 앞에 출입하였거니와
3 Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”
내가 여기 있나니 여호와 앞과 그 기름 부음을 받은 자 앞에서 내게 대하여 증거하라 내가 뉘 소를 취하였느냐? 뉘 나귀를 취하였느냐? 누구를 속였느냐? 누구를 압제하였느냐? 내 눈을 흐리게 하는 뇌물을 뉘 손에서 취하였느냐? 그리하였으면 내가 그것을 너희에게 갚으리라'
4 Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.”
그들이 가로되 `당신이 우리를 속이지 아니하였고 압제하지 아니하였고 뉘 손에서 아무 것도 취한 것이 없나이다'
5 Awo Samwiri n’abaddamu nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.”
사무엘이 백성에게 이르되 `너희가 내 손에서 아무 것도 찾아낸 것이 없음을 여호와께서 너희에게 대하여 증거하시며 그 기름 부음을 받은 자도 오늘날 증거하느니라' 그들이 가로되 `그가 증거하시나이다'
6 Samwiri n’agamba abantu nti, “Mukama ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri.
사무엘이 백성에게 이르되 `모세와 아론을 세우시며 너희 열조를 애굽 땅에서 인도하여 내신 이는 여호와시니
7 Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga Mukama, eri okubalamula era n’okubajjukiza ebikolwa eby’obutuukirivu Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe.
그런즉 가만히 섰으라! 여호와께서 너희와 너희 열조에게 행하신 모든 의로운 일에 대하여 내가 여호와 앞에서 너희와 담론하리라
8 “Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama; Mukama yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino.
야곱이 애굽에 들어간 후 너희 열조가 여호와께 부르짖으매 여호와께서 모세와 아론을 보내사 그 두 사람으로 너희 열조를 애굽에서 인도하여 내어 이곳에 거하게 하셨으나
9 “Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga.
그들이 그 하나님 여호와를 잊은지라 여호와께서 그들을 하솔 군장 시스라의 손과 블레셋 사람의 손과 모압 왕의 손에 붙이셨더니 그들이 치매
10 Abayisirayiri ne bakaabirira Mukama, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’
백성이 여호와께 부르짖어 가로되 우리가 여호와를 버리고 바알들과 아스다롯을 섬기므로 범죄하였나이다 그러하오나 이제 우리를 원수들의 손에서 건져 내소서 그리하시면 우리가 주를 섬기겠나이다 하매
11 Mukama n’alyoka atuma Yerubbaali, ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gw’abalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe.
여호와께서 여룹바알과 베단과 입다와 나 사무엘을 보내사 너희를 너희 사방 원수의 손에서 건져내사 너희로 안전히 거하게 하셨거늘
12 Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’
너희가 암몬 자손의 왕 나하스의 너희를 치러 옴을 보고 너희 하나님 여호와께서는 너희의 왕이 되실지라도 너희가 내게 이르기를 아니라 우리를 다스릴 왕이 있어야 하겠다 하였도다
13 Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga.
이제 너희의 구한 왕 너희의 택한 왕을 보라 여호와께서 너희 위에 왕을 세우셨느니라
14 Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, kinaabanga kirungi.
너희가 만일 여호와를 경외하여 그를 섬기며 그 목소리를 듣고 여호와의 명령을 거역하지 아니하며 또 너희와 너희를 다스리는 왕이 너희 하나님 여호와를 좇으면 좋으니라마는
15 Naye bwe mutaagonderenga Mukama, ne mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe.
너희가 만일 여호와의 목소리를 듣지 아니하고 여호와의 명령을 거역하면 여호와의 손이 너희의 열조를 치신 것 같이 너희를 치실 것이라
16 “Kale nno mulindirire mulabe ekintu ekikulu Mukama kyagenda okukola mu maaso gammwe.
너희는 이제 가만히 서서 여호와께서 너희 목전에 행하시는 이 큰 일을 보라,
17 Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba Mukama, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga Mukama.”
오늘은 밀 베는 때가 아니냐? 내가 여호와께 아뢰리니 여호와께서 우뢰와 비를 보내사 너희가 왕을 구한 일 곧 여호와의 목전에 범한 죄악이 큼을 너희로 밝히 알게 하시리라'
18 Awo Samwiri n’asaba Mukama, Mukama n’aweereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri.
이에 사무엘이 여호와께 아뢰매 여호와께서 그 날에 우뢰와 비를 보내시니 모든 백성이 여호와와 사무엘을 크게 두려워하니라
19 Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri Mukama Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.”
모든 백성이 사무엘에게 이르되 `당신의 종들을 위하여 당신의 하나님 여호와께 기도하여 우리로 죽지 않게 하소서! 우리가 우리의 모든 죄에 왕을 구하는 악을 더하였나이다'
20 Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna.
사무엘이 백성에게 이르되 `두려워 말라! 너희가 과연 이 모든 악을 행하였으나 여호와를 좇는 데서 돌이키지 말고 오직 너희 마음을 다하여 여호와를 섬기라!
21 Temukyukanga okugoberera ebintu ebitaliimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebiriimu nsa.
돌이켜 유익하게도 못하며 구원하지도 못하는 헛된 것을 좇지 말라! 그들은 헛되니라
22 Mukama tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga Mukama yasiima okubafuula ababe.
여호와께서는 너희로 자기 백성 삼으신 것을 기뻐하신 고로 그 크신 이름을 인하여 자기 백성을 버리지 아니하실 것이요
23 Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu.
나는 너희를 위하여 기도하기를 쉬는 죄를 여호와 앞에 결단코 범치 아니하고 선하고 의로운 도로 너희를 가르칠 것인즉
24 Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera.
너희는 여호와께서 너희를 위하여 행하신 그 큰 일을 생각하여 오직 그를 경외하며 너희의 마음을 다하여 진실히 섬기라!
25 Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.”
만일 너희가 여전히 악을 행하면 너희와 너희 왕이 다 멸망하리라'