< 1 Ebyomumirembe 19 >
1 Awo oluvannyuma lw’ebyo, nga wayiseewo ebbanga, Nakasi kabaka w’Abamoni n’afa, mutabani we n’amusikira.
And it cometh to pass after this, that Nahash king of the sons of Ammon dieth, and his son reigneth in his stead,
2 Dawudi n’alowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi n’amuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa. Naye abasajja ba Dawudi bwe baatuuka eri Kanuni mu nsi ey’Abamoni okumukubagiza,
and David saith, 'I do kindness with Hanun son of Nahash, for his father did with me kindness;' and David sendeth messengers to comfort him concerning his father. And the servants of David come in unto the land of the sons of Ammon, unto Hanun, to comfort him,
3 abakungu b’abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?”
and the heads of the sons of Ammon say to Hanun, 'Is David honouring thy father, in thine eyes, because he hath sent to thee comforters? in order to search, and to overthrow, and to spy out, the land, have not his servants come in unto thee?'
4 Awo Kanuni n’alagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, n’abamwako enviiri n’abasalako n’ebirevu, n’asala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, n’oluvannyuma n’abagoba baddeyo.
And Hanun taketh the servants of David, and shaveth them, and cutteth their long robes in the midst, unto the buttocks, and sendeth them away.
5 Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.”
And [some] go, and declare to David concerning the men, and he sendeth to meet them — for the men have been greatly ashamed — and the king saith, 'Dwell in Jericho till that your beard is grown, then ye have returned.'
6 Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya n’e Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali n’abeebagala embalaasi.
And the sons of Ammon see that they have made themselves abhorred by David, and Hanun and the sons of Ammon send a thousand talents of silver, to hire to them, from Aram-Naharaim, and from Aram-Maachah, and from Zobah, chariots and horsemen;
7 Beeyazika amagaali n’abeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka w’e Maaka n’eggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala.
and they hire to them two and thirty thousand chariots, and the king of Maachah and his people, and they come in and encamp before Medeba, and the sons of Ammon have been gathered out of their cities, and come in to the battle.
8 Olwawulira ekyo, Dawudi n’aweereza Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira.
And David heareth, and sendeth Joab, and all the host of the mighty men,
9 Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki w’ekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale.
and the sons of Ammon come out and set battle in array at the opening of the city, and the kings who have come [are] by themselves in the field.
10 Awo Yowaabu bwe yalaba ng’abalabe bamutabaala mu maaso n’emabega, n’alonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo n’abaweereza okulwana n’Abasuuli.
And Joab seeth that the front of the battle hath been unto him, before and behind, and he chooseth out of all the choice in Israel, and setteth in array to meet Aram,
11 Abalala n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana n’Abamoni.
and the remnant of the people he hath given into the hand of Abishai his brother, and they set in array to meet the sons of Ammon.
12 Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja n’ombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere.
And he saith, 'If Aram be stronger than I, then thou hast been to me for salvation; and if the sons of Ammon be stronger than thou, then I have saved thee;
13 Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.”
be strong, and we strengthen ourselves, for our people, and for the cities of our God, and Jehovah doth that which is good in His eyes.'
14 Awo Yowaabu n’abalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka.
And Joab draweth nigh, and the people who [are] with him, before Aram to battle, and they flee from his face;
15 Abaana ba Amoni bwe balaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira ekibuga. Awo Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi.
and the sons of Ammon have seen that Aram hath fled, and they flee — they also — from the face of Abishai his brother, and go in to the city. And Joab cometh in to Jerusalem.
16 Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala w’Omugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi ow’eggye lya Kadalezeri yabakulembedde.
And Aram seeth that they have been smitten before Israel, and send messengers, and bring out Aram that [is] beyond the River, and Shophach head of the host of Hadarezer [is] before them.
17 Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’asomoka Yoludaani nabo, n’agenda n’abalumba n’asimba ennyiriri ng’abesimbye mu maaso. Dawudi n’atandika okulwana n’Abasuuli, n’abo ne bamulwanyisa.
And it is declared to David, and he gathereth all Israel, and passeth over the Jordan, and cometh in unto them, and setteth in array against them; yea, David setteth in array the battle to meet Aram, and they fight with him;
18 Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi n’atta abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ena. Ate n’atta ne Sofaki omuduumizi w’eggye lyabwe.
and Aram fleeth from the face of Israel, and David slayeth of Aram seven thousand charioteers, and forty thousand footmen, and Shophach head of the host he hath put to death.
19 Awo abantu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne batabagana ne Dawudi era ne bafuuka abaddu be; so n’Abasuuli tebakkiriza kuyamba abaana be Amooni nate.
And the servants of Hadarezer see that they have been smitten before Israel, and they make peace with David and serve him, and Aram hath not been willing to help the sons of Ammon any more.