< Jeremiæ 18 >
1 verbum quod factum est ad Hieremiam a Domino dicens
Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti,
2 surge et descende in domum figuli et ibi audies verba mea
“Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.”
3 et descendi in domum figuli et ecce ipse faciebat opus super rotam
Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga.
4 et dissipatum est vas quod ipse faciebat e luto manibus suis conversusque fecit illud vas alterum sicut placuerat in oculis eius ut faceret
Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.
5 et factum est verbum Domini ad me dicens
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti,
6 numquid sicut figulus iste non potero facere vobis domus Israhel ait Dominus ecce sicut lutum in manu figuli sic vos in manu mea domus Israhel
“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri.
7 repente loquar adversum gentem et adversum regnum ut eradicem et destruam et disperdam illud
Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa,
8 si paenitentiam egerit gens illa a malo suo quod locutus sum adversum eam agam et ego paenitentiam super malo quod cogitavi ut facerem ei
era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola.
9 et subito loquar de gente et regno ut aedificem et ut plantem illud
Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba,
10 si fecerit malum in oculis meis ut non audiat vocem meam paenitentiam agam super bono quod locutus sum ut facerem ei
era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.
11 nunc ergo dic viro Iudae et habitatoribus Hierusalem dicens haec dicit Dominus ecce ego fingo contra vos malum et cogito contra vos cogitationem revertatur unusquisque a via sua mala et dirigite vias vestras et studia vestra
“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’
12 qui dixerunt desperavimus post cogitationes enim nostras ibimus et unusquisque pravitatem cordis sui mali faciemus
Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’”
13 ideo haec dicit Dominus interrogate gentes quis audivit talia horribilia quae fecit nimis virgo Israhel
Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti, “Mwebuuzeeko mu mawanga. Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti? Muwala wange Isirayiri akoze ekintu eky’ekivve.
14 numquid deficiet de petra agri nix Libani aut evelli possunt aquae erumpentes frigidae et defluentes
Omuzira oguli ku Lebanooni gwali guwedde ku njazi zaakwo? Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 quia oblitus est mei populus meus frustra libantes et inpingentes in viis suis in semitis saeculi ut ambularent per eas in itinere non trito
Naye ate abantu bange banneerabidde, banyookezza obubaane eri bakatonda abalala, abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe era ne mu makubo ag’edda era ne balaga mu bukubokubo.
16 ut fieret terra eorum in desolationem et in sibilum sempiternum omnis qui praeterit per eam obstupescet et movebit caput suum
Ensi yaabwe ya kusigala matongo, ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna, abo bonna abayise balyewuunya era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 sicut ventus urens dispergam eos coram inimico dorsum et non faciem ostendam eis in die perditionis eorum
Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe ng’empewo eva ebuvanjuba; ndibalaga mabega so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”
18 et dixerunt venite et cogitemus contra Hieremiam cogitationes non enim peribit lex a sacerdote neque consilium a sapiente nec sermo a propheta venite et percutiamus eum lingua et non adtendamus ad universos sermones eius
Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”
19 adtende Domine ad me et audi vocem adversariorum meorum
Ompulirize, Ayi Mukama, owulirize abampakanya kye bagamba.
20 numquid redditur pro bono malum quia foderunt foveam animae meae recordare quod steterim in conspectu tuo ut loquerer pro eis bonum et averterem indignationem tuam ab eis
Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi? Bansimidde obunnya. Ojjukire nga nayimirira mu maaso go ne nkaaba ku lwabwe, nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
21 propterea da filios eorum in famem et deduc eos in manus gladii fiant uxores eorum absque liberis et viduae et viri earum interficiantur morte iuvenes eorum confodiantur gladio in proelio
Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala, obaweeyo battibwe n’ekitala. Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu; abasajja baabwe battibwe; abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
22 audiatur clamor de domibus eorum adduces enim super eos latronem repente quia foderunt foveam ut caperent me et laqueos absconderunt pedibus meis
Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe, bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo, kubanga bansimidde ekinnya bankwate era bateze ebigere byange emitego.
23 tu autem Domine scis omne consilium eorum adversum me in mortem ne propitieris iniquitati eorum et peccatum eorum a facie tua non deleatur fiant corruentes in conspectu tuo in tempore furoris tui abutere eis
Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna, bye bateesa banzite. Tobasonyiwa byonoono byabwe wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go. Obawangulire ddala, era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.