< 시편 78 >
1 (아삽의 마스길) 내 백성이여, 내 교훈을 들으며 내 입의 말에 귀를 기울일지어다
Oluyimba lwa Asafu. Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange, musseeyo omwoyo ku bye njogera.
2 내가 입을 열고 비유를 베풀어서 옛 비밀한 말을 발표하리니
Ndyogerera mu ngero, njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
3 이는 우리가 들은 바요 아는 바요 우리 열조가 우리에게 전한 바라
ebintu bye twawulira ne tumanya; ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
4 우리가 이를 그 자손에게 숨기지 아니하고 여호와의 영예와 그 능력과 기이한 사적을 후대에 전하리로다
Tetuubikisenga baana baabwe, naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo, n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
5 여호와께서 증거를 야곱에게 세우시며 법도를 이스라엘에게 정하시고 우리 열조에게 명하사 저희 자손에게 알게 하라 하셨으니
Yawa Yakobo ebiragiro, n’ateeka amateeka mu Isirayiri; n’alagira bajjajjaffe babiyigirizenga abaana baabwe,
6 이는 저희로 후대 곧 후생 자손에게 이를 알게 하고 그들은 일어나 그 자손에게 일러서
ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye, n’abaana abalizaalibwa, nabo babiyigirize abaana baabwe,
7 저희로 그 소망을 하나님께 두며 하나님의 행사를 잊지 아니하고 오직 그 계명을 지켜서
balyoke beesigenga Katonda, era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola; naye bagonderenga ebiragiro bye.
8 그 열조 곧 완고하고 패역하여 그 마음이 정직하지 못하며 그 심령은 하나님께 충성치 아니한 세대와 같지 않게 하려 하심이로다
Baleme okuba nga bajjajjaabwe, omulembe ogw’abakakanyavu era abajeemu abatali bawulize, ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.
9 에브라임 자손은 병기를 갖추며 활을 가졌으나 전쟁의 날에 물러갔도다
Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa, naye ne badduka mu lutalo,
10 저희가 하나님의 언약을 지키지 아니하고 그 율법 준행하기를 거절하며
tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda; ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 여호와의 행하신 것과 저희에게 보이신 기사를 잊었도다
Beerabira ebyo bye yakola, n’ebyamagero bye yabalaga.
12 옛적에 하나님이 애굽 땅 소안 들에서 기이한 일을 저희 열조의 목전에서 행하셨으되
Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 저가 바다를 갈라 물을 무더기 같이 서게 하시고 저희로 지나게 하셨으며
Ennyanja yajaawulamu, amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 낮에는 구름으로 온 밤에는 화광으로 인도하셨으며
Emisana yabakulemberanga n’ekire, n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 광야에서 반석을 쪼개시고 깊은 수원에서 나는 것 같이 저희에게 물을 흡족히 마시우셨으며
Yayasa enjazi mu ddungu, n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 또 반석에서 시내를 내사 물이 강 같이 흐르게 하셨으나
Yaggya ensulo mu lwazi, n’akulukusa amazzi ng’emigga.
17 저희는 계속하여 하나님께 범죄하여 황야에서 지존자를 배반하였도다
Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona, ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 저희가 저희 탐욕대로 식물을 구하여 그 심중에 하나님을 시험하였으며
Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu, nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 그 뿐 아니라 하나님을 대적하여 말하기를 하나님이 광야에서 능히 식탁을 준비하시랴
Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti, “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 저가 반석을 쳐서 물을 내시매 시내가 넘쳤거니와 또 능히 떡을 주시며 그 백성을 위하여 고기를 예비하시랴 하였도다
Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gakulukuta ng’emigga; naye anaatuwa emmere? Anaawa abantu be ennyama?”
21 그러므로 여호와께서 듣고 노하심이여 야곱을 향하여 노가 맹렬하며 이스라엘을 향하여 노가 올랐으니
Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo; omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo, n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 이는 하나님을 믿지 아니하며 그 구원을 의지하지 아니한 연고로다
Kubanga tebakkiriza Katonda, era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 그러나 저가 오히려 위의 궁창을 명하시며 하늘 문을 여시고
Naye era n’alagira eggulu; n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 저희에게 만나를 비같이 내려 먹이시며 하늘 양식으로 주셨나니
N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye. Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 사람이 권세 있는 자의 떡을 먹음이여 하나님이 식물을 충족히 주셨도다
Abantu ne balya emmere ya bamalayika; Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 저가 동풍으로 하늘에서 일게 하시며 그 권능으로 남풍을 인도하시고
N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu, era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 저희에게 고기를 티끌같이 내리시니 곧 바다 모래 같은 나는 새라
Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu; n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 그 진중에 떨어지게 하사 그 거처에 둘리셨도다
Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe; okwetooloola eweema zaabwe.
29 저희가 먹고 배불렀나니 하나님이 저희 소욕대로 주셨도다
Awo ne balya ne bakkuta nnyo; kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 저희가 그 욕심에서 떠나지 아니하고 저희 식물이 아직 그 입에 있을 때에
Naye bwe baali nga bakyalulunkana, nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 하나님이 저희를 대하여 노를 발하사 저희 중 살진 자를 죽이시며 이스라엘의 청년을 쳐 엎드러뜨리셨도다
obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n’abattamu abasajja abasinga amaanyi; abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.
32 그럴지라도 저희가 오히려 범죄하여 그의 기사를 믿지 아니하였으므로
Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona; newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 하나님이 저희 날을 헛되이 보내게 하시며 저희 해를 두렵게 지내게 하셨도다
Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe, n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 하나님이 저희를 죽이실 때에 저희가 그에게 구하며 돌이켜 하나님을 간절히 찾았고
Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya, ne beenenya ne badda gy’ali.
35 하나님이 저희의 반석이시요 지존하신 하나님이 저희 구속자이심을 기억하였도다
Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe; era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 그러나 저희가 입으로 그에게 아첨하며 자기 혀로 그에게 거짓을 말하였으니
Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe, nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 이는 하나님께 향하는 저희 마음이 정함이 없으며 그의 언약에 성실치 아니하였음이로다
so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe, era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 오직 하나님은 자비하심으로 죄악을 사하사 멸하지 아니하시고 그 진노를 여러번 돌이키시며 그 분을 다 발하지 아니하셨으니
Naye ye n’abakwatirwanga ekisa n’abasonyiwanga, n’atabazikiriza; emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe, n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 저희는 육체 뿐이라 가고 다시 오지 못하는 바람임을 기억하셨음이로다
Yajjukira nga baali mubiri bubiri; ng’empewo egenda n’etedda!
40 저희가 광야에서 그를 반항하며 사막에서 그를 슬프시게 함이 몇번인고
Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu; ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 저희가 돌이켜 하나님을 재삼 시험하며 이스라엘의 거룩한 자를 격동하였도다
Ne baddamu ne bakema Katonda, ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 저희가 그의 권능을 기억지 아니하며 대적에게서 구속하신 날도 생각지 아니하였도다
Tebajjukira buyinza bwe; wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 그 때에 하나님이 애굽에서 그 징조를, 소안 들에서 그 기사를 나타내사
bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri, n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 저희의 강과 시내를 피로 변하여 저희로 마실수 없게 하시며
yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi, ne batanywa mazzi gaagyo.
45 파리 떼를 저희 중에 보내어 물게 하시고 개구리를 보내어 해하게 하셨으며
Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma, n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 저희의 토산물을 황충에게 주시며 저희의 수고한 것을 메뚜기에게 주셨으며
Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige ne bulusejjera.
47 저희 포도나무를 우박으로, 저희 뽕나무를 서리로 죽이셨으며
Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira, era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 저희 가축을 우박에, 저희 양떼를 번갯불에 붙이셨으며
Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira; n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 그 맹렬한 노와 분과 분노와 고난 곧 벌하는 사자들을 저희에게 내려 보내셨으며
Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako, n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa. N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 그 노를 위하여 치도하사 저희 혼의 사망을 면케 아니하시고 저희 생명을 염병에 붙이셨으며
Yabalaga obusungu bwe, n’atabasonyiwa kufa, n’abasindikira kawumpuli.
51 애굽에서 모든 장자 곧 함의 장막에 있는 그 기력의 시작을 치셨으나
Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri, nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 자기 백성을 양 같이 인도하여 내시고 광야에서 양떼같이 지도하셨도다
N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga, n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 저희를 안전히 인도하시니 저희는 두려움이 없었으나 저희 원수는 바다에 엄몰되었도다
N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya, ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 저희를 그 성소의 지경 곧 그의 오른손이 취하신 산으로 인도하시고
N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu; ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 또 열방을 저희 앞에서 쫓아 내시며 줄로 저희 기업을 분배하시고 이스라엘 지파로 그 장막에 거하게 하셨도다
Yagobamu amawanga nga balaba, n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo; n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 그럴지라도 저희가 지존하신 하나님을 시험하며 반항하여 그 증거를 지키지 아니하며
Naye era ne bakema Katonda; ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo, ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 저희 열조같이 배반하고 궤사를 행하여 속이는 활 같이 빗가서
Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali, ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 자기 산당으로 그 노를 격동하며 저희 조각한 우상으로 그를 진노케 하였으매
Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu, ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 하나님이 들으시고 분내어 이스라엘을 크게 미워하사
Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 실로의 성막 곧 인간에 세우신 장막을 떠나시고
N’ava mu weema ey’omu Siiro, eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 그 능력된 자를 포로에 붙이시며 자기 영광을 대적의 손에 붙이시고
N’awaayo amaanyi ge mu busibe, n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 그 백성을 또 칼에 붙이사 그의 기업에게 분내셨으니
Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala, n’asunguwalira omugabo gwe.
63 저희 청년은 불에 살라지고 저희 처녀에게는 혼인 노래가 없으며
Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi, ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 저희 제사장들은 칼에 엎드러지고 저희 과부들은 애곡하지 못하였도다
Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.
65 때에 주께서 자다가 깬 자 같이 포도주로 인하여 외치는 용사 같이 일어나사
Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo, ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 그 대적들을 쳐 물리쳐서 길이 욕되게 하시고
N’akuba abalabe be ne badduka; n’abaswaza emirembe gyonna.
67 또 요셉의 장막을 싫어 버리시며 에브라임 지파를 택하지 아니하시고
Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu, n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 오직 유다 지파와 그 사랑하시는 시온산을 택하시고
naye n’alonda ekika kya Yuda, lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 그 성소를 산의 높음 같이, 영원히 두신 땅 같이 지으셨으며
N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu; ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 또 그 종 다윗을 택하시되 양의 우리에서 취하시며
Yalonda Dawudi omuweereza we; n’amuggya mu kulunda endiga.
71 젖 양을 지키는 중에서 저희를 이끄사 그 백성인 야곱 그 기업인 이스라엘을 기르게 하셨더니
Ave mu kuliisa endiga, naye alundenga Yakobo, be bantu be, era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 이에 저가 그 마음의 성실함으로 기르고 그 손의 공교함으로 지도하였도다
N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa, n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.