< תהילים 14 >

למנצח לדוד אמר נבל בלבו אין אלהים השחיתו התעיבו עלילה אין עשה טוב׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.
יהוה משמים השקיף על בני אדם לראות היש משכיל דרש את אלהים׃ 2
Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ng’asinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda.
הכל סר יחדו נאלחו אין עשה טוב אין גם אחד׃ 3
Naye bonna bakyamye boonoonese; teri akola kirungi, era teri n’omu.
הלא ידעו כל פעלי און אכלי עמי אכלו לחם יהוה לא קראו׃ 4
Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga? Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere; so tebakoowoola Mukama.
שם פחדו פחד כי אלהים בדור צדיק׃ 5
Balitya nnyo! Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
עצת עני תבישו כי יהוה מחסהו׃ 6
Mulemesa entegeka z’omwavu, songa Mukama kye kiddukiro kye.
מי יתן מציון ישועת ישראל בשוב יהוה שבות עמו יגל יעקב ישמח ישראל׃ 7
Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni! Mukama bw’alirokola abantu be, Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

< תהילים 14 >