< תהילים 132 >

שיר המעלות זכור יהוה לדוד את כל ענותו׃ 1
Oluyimba nga balinnya amadaala. Ayi Mukama jjukira Dawudi n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
אשר נשבע ליהוה נדר לאביר יעקב׃ 2
Nga bwe yalayirira Mukama, ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
אם אבא באהל ביתי אם אעלה על ערש יצועי׃ 3
ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange, wadde okulinnya ku kitanda kyange.
אם אתן שנת לעיני לעפעפי תנומה׃ 4
Sirikkiriza tulo kunkwata newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
עד אמצא מקום ליהוה משכנות לאביר יעקב׃ 5
okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo; ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
הנה שמענוה באפרתה מצאנוה בשדי יער׃ 6
Laba, twakiwulirako mu Efulasa, ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
נבואה למשכנותיו נשתחוה להדם רגליו׃ 7
Kale tugende mu kifo kye mw’abeera, tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
קומה יהוה למנוחתך אתה וארון עזך׃ 8
Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira; ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
כהניך ילבשו צדק וחסידיך ירננו׃ 9
Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu, n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
בעבור דוד עבדך אל תשב פני משיחך׃ 10
Ku lulwe Dawudi omuddu wo, tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
נשבע יהוה לדוד אמת לא ישוב ממנה מפרי בטנך אשית לכסא לך׃ 11
Mukama Katonda yalayirira Dawudi ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako. Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
אם ישמרו בניך בריתי ועדתי זו אלמדם גם בניהם עדי עד ישבו לכסא לך׃ 12
Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga, ne batabani baabwe nabo banaatuulanga ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
כי בחר יהוה בציון אוה למושב לו׃ 13
Kubanga Mukama yalonda Sayuuni, nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
זאת מנוחתי עדי עד פה אשב כי אותיה׃ 14
“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna; omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
צידה ברך אברך אביוניה אשביע לחם׃ 15
Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi, era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
וכהניה אלביש ישע וחסידיה רנן ירננו׃ 16
Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe; n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
שם אצמיח קרן לדוד ערכתי נר למשיחי׃ 17
“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza; ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
אויביו אלביש בשת ועליו יציץ נזרו׃ 18
Abalabe be ndibajjuza ensonyi, naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”

< תהילים 132 >