< מִשְׁלֵי 7 >
בני שמר אמרי ומצותי תצפן אתך׃ | 1 |
Mutabani nyweeza ebigambo byange, era okuumenga ebiragiro byange.
שמר מצותי וחיה ותורתי כאישון עיניך׃ | 2 |
Kwata ebiragiro byange obeere mulamu, n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
קשרם על אצבעתיך כתבם על לוח לבך׃ | 3 |
togalekanga kuva mu ngalo zo, gawandiike ku mutima gwo.
אמר לחכמה אחתי את ומדע לבינה תקרא׃ | 4 |
Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko, n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
לשמרך מאשה זרה מנכריה אמריה החליקה׃ | 5 |
Binaakuwonyanga omukazi omwenzi, omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.
כי בחלון ביתי בעד אשנבי נשקפתי׃ | 6 |
Lumu nnali nnyimiridde ku ddirisa ly’ennyumba yange.
וארא בפתאים אבינה בבנים נער חסר לב׃ | 7 |
Ne ndaba mu bavubuka abatoototo, omulenzi atalina magezi,
עבר בשוק אצל פנה ודרך ביתה יצעד׃ | 8 |
ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi, n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
בנשף בערב יום באישון לילה ואפלה׃ | 9 |
olw’eggulo ng’obudde buzibye, ekizikiza nga kikutte.
והנה אשה לקראתו שית זונה ונצרת לב׃ | 10 |
Awo omukazi n’ajja okumusisinkana ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
המיה היא וסררת בביתה לא ישכנו רגליה׃ | 11 |
Omukazi omukalukalu, atambulatambula ennyo atabeerako waka,
פעם בחוץ פעם ברחבות ואצל כל פנה תארב׃ | 12 |
wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu, mu buli kafo konna ng’ateega!
והחזיקה בו ונשקה לו העזה פניה ותאמר לו׃ | 13 |
N’amuvumbagira, n’amunywegera era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:
זבחי שלמים עלי היום שלמתי נדרי׃ | 14 |
“Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, leero ntukiriza obweyamo bwange.
על כן יצאתי לקראתך לשחר פניך ואמצאך׃ | 15 |
Noolwekyo nzize okukusisinkana, mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
מרבדים רבדתי ערשי חטבות אטון מצרים׃ | 16 |
Obuliri bwange mbwaze bulungi n’engoye eza linena ava mu Misiri.
נפתי משכבי מר אהלים וקנמון׃ | 17 |
Mbukubye n’akaloosa, n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
לכה נרוה דדים עד הבקר נתעלסה באהבים׃ | 18 |
Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya; leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
כי אין האיש בביתו הלך בדרך מרחוק׃ | 19 |
Kubanga baze taliiyo eka; yatambula olugendo luwanvu:
צרור הכסף לקח בידו ליום הכסא יבא ביתו׃ | 20 |
Yagenda n’ensawo y’ensimbi; era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”
הטתו ברב לקחה בחלק שפתיה תדיחנו׃ | 21 |
Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza; n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
הולך אחריה פתאם כשור אל טבח יבוא וכעכס אל מוסר אויל׃ | 22 |
Amangwago omuvubuka n’amugoberera ng’ente etwalibwa okuttibwa obanga empeewo egwa mu mutego,
עד יפלח חץ כבדו כמהר צפור אל פח ולא ידע כי בנפשו הוא׃ | 23 |
okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo, ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego, so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.
ועתה בנים שמעו לי והקשיבו לאמרי פי׃ | 24 |
Kaakano nno batabani bange mumpulirize, era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
אל ישט אל דרכיה לבך אל תתע בנתיבותיה׃ | 25 |
Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye; temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
כי רבים חללים הפילה ועצמים כל הרגיה׃ | 26 |
Kubanga bangi bazikiridde, ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
דרכי שאול ביתה ירדות אל חדרי מות׃ (Sheol ) | 27 |
Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe, nga likka mu bisenge eby’okufa. (Sheol )