< דברי הימים א 29 >
ויאמר דויד המלך לכל הקהל שלמה בני אחד בחר בו אלהים נער ורך והמלאכה גדולה כי לא לאדם הבירה כי ליהוה אלהים׃ | 1 |
Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda.
וככל כחי הכינותי לבית אלהי הזהב לזהב והכסף לכסף והנחשת לנחשת הברזל לברזל והעצים לעצים אבני שהם ומלואים אבני פוך ורקמה וכל אבן יקרה ואבני שיש לרב׃ | 2 |
Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo.
ועוד ברצותי בבית אלהי יש לי סגלה זהב וכסף נתתי לבית אלהי למעלה מכל הכינותי לבית הקדש׃ | 3 |
Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange;
שלשת אלפים ככרי זהב מזהב אופיר ושבעת אלפים ככר כסף מזקק לטוח קירות הבתים׃ | 4 |
ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge by’ekizimbe,
לזהב לזהב ולכסף לכסף ולכל מלאכה ביד חרשים ומי מתנדב למלאות ידו היום ליהוה׃ | 5 |
n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?”
ויתנדבו שרי האבות ושרי שבטי ישראל ושרי האלפים והמאות ולשרי מלאכת המלך׃ | 6 |
Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa.
ויתנו לעבודת בית האלהים זהב ככרים חמשת אלפים ואדרכנים רבו וכסף ככרים עשרת אלפים ונחשת רבו ושמונת אלפים ככרים וברזל מאה אלף ככרים׃ | 7 |
Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda.
והנמצא אתו אבנים נתנו לאוצר בית יהוה על יד יחיאל הגרשני׃ | 8 |
Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni.
וישמחו העם על התנדבם כי בלב שלם התנדבו ליהוה וגם דויד המלך שמח שמחה גדולה׃ | 9 |
Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini.
ויברך דויד את יהוה לעיני כל הקהל ויאמר דויד ברוך אתה יהוה אלהי ישראל אבינו מעולם ועד עולם׃ | 10 |
Awo Dawudi n’atendereza Mukama mu lujjudde lw’abantu bonna, n’ayogera nti, “Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda, Katonda wa jjajjaffe Isirayiri, emirembe n’emirembe.
לך יהוה הגדלה והגבורה והתפארת והנצח וההוד כי כל בשמים ובארץ לך יהוה הממלכה והמתנשא לכל לראש׃ | 11 |
Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi, n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
והעשר והכבוד מלפניך ואתה מושל בכל ובידך כח וגבורה ובידך לגדל ולחזק לכל׃ | 12 |
Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli, era ggwe ofuga ebintu byonna; omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
ועתה אלהינו מודים אנחנו לך ומהללים לשם תפארתך׃ | 13 |
Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
וכי מי אני ומי עמי כי נעצר כח להתנדב כזאת כי ממך הכל ומידך נתנו לך׃ | 14 |
“Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo.
כי גרים אנחנו לפניך ותושבים ככל אבתינו כצל ימינו על הארץ ואין מקוה׃ | 15 |
Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi.
יהוה אלהינו כל ההמון הזה אשר הכיננו לבנות לך בית לשם קדשך מידך היא ולך הכל׃ | 16 |
Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo.
וידעתי אלהי כי אתה בחן לבב ומישרים תרצה אני בישר לבבי התנדבתי כל אלה ועתה עמך הנמצאו פה ראיתי בשמחה להתנדב לך׃ | 17 |
Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu.
יהוה אלהי אברהם יצחק וישראל אבתינו שמרה זאת לעולם ליצר מחשבות לבב עמך והכן לבבם אליך׃ | 18 |
Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe.
ולשלמה בני תן לבב שלם לשמור מצותיך עדותיך וחקיך ולעשות הכל ולבנות הבירה אשר הכינותי׃ | 19 |
Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”
ויאמר דויד לכל הקהל ברכו נא את יהוה אלהיכם ויברכו כל הקהל ליהוה אלהי אבתיהם ויקדו וישתחוו ליהוה ולמלך׃ | 20 |
Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.
ויזבחו ליהוה זבחים ויעלו עלות ליהוה למחרת היום ההוא פרים אלף אילים אלף כבשים אלף ונסכיהם וזבחים לרב לכל ישראל׃ | 21 |
Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna.
ויאכלו וישתו לפני יהוה ביום ההוא בשמחה גדולה וימליכו שנית לשלמה בן דויד וימשחו ליהוה לנגיד ולצדוק לכהן׃ | 22 |
Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo. Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona.
וישב שלמה על כסא יהוה למלך תחת דויד אביו ויצלח וישמעו אליו כל ישראל׃ | 23 |
Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera.
וכל השרים והגברים וגם כל בני המלך דויד נתנו יד תחת שלמה המלך׃ | 24 |
Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani.
ויגדל יהוה את שלמה למעלה לעיני כל ישראל ויתן עליו הוד מלכות אשר לא היה על כל מלך לפניו על ישראל׃ | 25 |
Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.
ודויד בן ישי מלך על כל ישראל׃ | 26 |
Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna.
והימים אשר מלך על ישראל ארבעים שנה בחברון מלך שבע שנים ובירושלם מלך שלשים ושלוש׃ | 27 |
Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi.
וימת בשיבה טובה שבע ימים עשר וכבוד וימלך שלמה בנו תחתיו׃ | 28 |
N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.
ודברי דויד המלך הראשנים והאחרנים הנם כתובים על דברי שמואל הראה ועל דברי נתן הנביא ועל דברי גד החזה׃ | 29 |
Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi,
עם כל מלכותו וגבורתו והעתים אשר עברו עליו ועל ישראל ועל כל ממלכות הארצות׃ | 30 |
era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.