< Jérémie 3 >

1 L'Éternel a dit: Si quelqu'un renvoie sa femme, et qu'elle le quitte et se joigne à un autre homme, retournera-t-il encore vers elle? Le pays même n'en serait-il pas vraiment souillé? Or toi, qui t'es prostituée à plusieurs amants, reviens à moi, dit l'Éternel.
“Omusajja bw’agoba mukazi we, omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala, omusajja we alimukomyawo nate? Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo? Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi; naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?” bw’ayogera Mukama.
2 Lève les yeux vers les hauteurs, et regarde: où ne t'es-tu pas prostituée! Tu te tenais sur les chemins comme un Arabe au désert, et tu as souillé le pays par tes prostitutions et par ta malice.
Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi. Waliwo ekifo we bateebakira naawe? Ku mabbali g’ekkubo we watulanga n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu; n’olyoka oyonoona ensi n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
3 Aussi les pluies ont-elles été retenues, et il n'y a pas eu de pluie de l'arrière-saison. Et tu as eu le front d'une femme débauchée; tu n'as pas voulu avoir honte.
Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa, n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya. Naye era otemya nga malaaya tokwatibwa nsonyi.
4 Maintenant tu crieras vers moi: Mon père! tu es l'ami de ma jeunesse!
Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange okuva mu buto bwange,
5 Gardera-t-il à toujours sa colère? la conservera-t-il à jamais? Voilà comment tu parles; et tu fais le mal, et tu l'accomplis!
onoonyiigira ddala emirembe gyonna, olisunguwala emirembe gyonna? Bw’otyo bw’oyogera, naye okoze ebibi byonna ebisoboka.
6 L'Éternel me dit dans les jours du roi Josias: As-tu vu ce qu'a fait Israël, la rebelle? Elle est allée sur toute haute montagne, et sous tout arbre vert, et elle s'est prostituée?
Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi.
7 Et je disais: après avoir fait toutes ces choses, elle reviendra à moi. Mais elle n'est pas revenue. Et sa sœur, Juda, la perfide, l'a vu.
Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba.
8 Et j'ai vu que, quoique j'eusse répudié Israël, la rebelle, à cause de tous ses adultères, et que je lui eusse donné sa lettre de divorce, cependant sa sœur, Juda, la perfide, n'en a point eu de crainte; mais elle s'en est allée et s'est aussi prostituée.
Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi.
9 Par le bruit de sa prostitution, elle a souillé le pays; elle a commis adultère avec la pierre et le bois.
Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge.
10 Et, malgré tout cela, sa sœur Juda, la perfide, n'est pas revenue à moi de tout son cœur, mais elle l'a fait avec mensonge, dit l'Éternel.
Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
11 L'Éternel donc m'a dit: Israël, la rebelle, s'est montrée plus juste que Juda, la perfide.
Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa.
12 Va, et crie ces paroles vers le Nord, et dis: Reviens, Israël, la rebelle! dit l'Éternel. Je ne prendrai point pour vous un visage sévère; car je suis miséricordieux, dit l'Éternel; je ne garde pas ma colère à toujours.
Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti, “‘Komawo ggwe Isirayiri, eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama. ‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama; ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 Mais reconnais ton iniquité: que tu t'es révoltée contre l'Éternel ton Dieu, que tu as tourné çà et là tes pas vers les étrangers, sous tout arbre vert, et que tu n'as point écouté ma voix, dit l'Éternel.
Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe, mwajeemera Mukama Katonda wammwe, mwasinza bakatonda abalala, wansi wa buli muti oguyimiridde, era ne mutaŋŋondera,’” bw’ayogera Mukama.
14 Convertissez-vous, enfants rebelles, dit l'Éternel; car je suis votre maître, et je vous prendrai, un d'une ville et deux d'une famille, et je vous ramènerai dans Sion;
“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.
15 Et je vous donnerai des bergers selon mon cœur, qui vous paîtront avec science et intelligence.
Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.
16 Et quand vous aurez multiplié et fructifié sur la terre, en ces jours-là, dit l'Éternel, on ne dira plus: L'arche de l'alliance de l'Éternel! Elle ne reviendra plus à la pensée; on n'en fera plus mention; on ne s'en informera plus, et elle ne sera plus refaite.
Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala.
17 En ce temps-là, on appellera Jérusalem le trône de l'Éternel, et toutes les nations s'assembleront à Jérusalem, au nom de l'Éternel, et elles ne suivront plus la dureté de leur mauvais cœur.
Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi.
18 En ces jours-là, la maison de Juda marchera avec la maison d'Israël, et elles viendront ensemble, du pays du Nord, au pays que j'ai donné en héritage à vos pères.
Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.
19 Et moi, j'ai dit: Comment t'admettrai-je au nombre de mes fils, et te donnerai-je la terre désirable, le plus excellent héritage des nations? Et j'ai dit: Tu me crieras: Mon père! et tu ne te détourneras plus de moi.
“Nze kennyini nalowooza “nga nayagala okubayisanga nga batabani bange, era mbawe ensi eyeegombebwa, nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna. Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’ ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
20 Mais, comme une femme est infidèle à son compagnon, ainsi vous m'avez été infidèles, maison d'Israël, dit l'Éternel.
Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera, bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.
21 Une voix se fait entendre sur les lieux élevés: ce sont les pleurs, les supplications des enfants d'Israël; car ils ont perverti leur voie, ils ont oublié l'Éternel leur Dieu.
Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu, nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe.
22 Convertissez-vous, enfants rebelles! Je guérirai vos infidélités. Dites: Nous venons à toi! car tu es l'Éternel notre Dieu.
“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa, nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.” Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli, kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
23 Certainement on s'attend en vain aux collines et à la multitude des montagnes; certainement c'est en l'Éternel notre Dieu qu'est la délivrance d'Israël.
Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala temuli kantu. Ddala mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.
24 Et la honte a dévoré le travail de nos pères, dès notre jeunesse, leurs brebis et leurs bœufs, leurs fils et leurs filles.
Naye okuva mu buto bwaffe bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
25 Couchons-nous dans notre honte, et que notre ignominie nous couvre! Car nous avons péché contre l'Éternel notre Dieu, nous et nos pères, dès notre jeunesse et jusqu'à ce jour; et nous n'avons point obéi à la voix de l'Éternel notre Dieu.
Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe, okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno; kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”

< Jérémie 3 >