< Isaïe 27 >

1 En ce jour-là, l’Éternel visitera de son épée, dure et grande et forte, le léviathan, serpent fuyard, et le léviathan, serpent tortueux; et il tuera le monstre qui est dans la mer.
Mu biro ebyo, Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye, ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene, alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula, Lukwata omusota ogwezinga, atte n’ogusota gw’ennyanja.
2 En ce jour-là, [il y aura] une vigne de vin pur; chantez à son sujet:
Mu biro ebyo “Yimba oluyimba ku bibala eby’ennimiro ey’emizabbibu ebaze ebibala.
3 Moi, l’Éternel, j’en prends soin; à tout moment je l’arroserai; de peur qu’on ne la visite, j’en prendrai soin nuit et jour.
Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira era nze ngifukirira buli kiseera. Ngikuuma emisana n’ekiro Waleme kubaawo n’omu agikola akabi.
4 Il n’y a pas en moi de fureur. Oh! si j’avais les ronces et les épines en bataille contre moi, je marcherais contre elles; je les brûlerais ensemble.
Siri munyiivu. Singa katazamiti n’amaggwa binnumba, nandibitabadde mu lutalo? Byonna nandibyokezza omuliro.
5 Ou bien, qu’il saisisse ma force, qu’il fasse la paix avec moi, qu’il fasse la paix avec moi!
Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane, weewaawo tutabagane.”
6 Dorénavant Jacob prendra racine, Israël fleurira et poussera, et remplira de fruits la face du monde.
Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira, Isirayiri aliroka n’amulisa n’ajjuza ensi yonna ebibala.
7 L’a-t-il frappé selon le coup de ceux qui l’ont frappé? A-t-il été tué selon la tuerie de ceux qu’il a tués?
Mukama amukubye omuggo ng’akuba abo abaamukuba? Attiddwa nga be yatta, bwe battibwa?
8 C’est avec mesure que tu as contesté avec elle, lorsque tu l’as renvoyée. Il l’ôta par son vent fort, au jour de [son] vent d’orient.
Olwanagana naye n’omusobola, n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi, ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo.
9 C’est pourquoi par cela est expiée l’iniquité de Jacob. Et ceci est tout le fruit de ce que son péché est ôté: quand il rendra toutes les pierres de l’autel comme des pierres calcaires désagrégées, les ashères et les colonnes consacrées au soleil ne se relèveront pas.
Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo, era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye. Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni agayasiddwayasiddwa, tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane ebirisigala biyimiridde.
10 Car la ville forte est solitaire, une demeure abandonnée et délaissée comme le désert; le veau y paîtra et y couchera, et en broutera les rameaux.
Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo, ekirekeddwa awo ng’eddungu. Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira, n’erya amalagala gonna ku matabi gaago.
11 Quand ses branches seront séchées, elles seront cassées; les femmes viendront et y mettront le feu. Car ce n’est pas un peuple qui ait de l’intelligence; c’est pourquoi celui qui l’a fait n’en aura pas compassion, et celui qui l’a formé n’usera pas de grâce envers lui.
Amatabi gaakyo bwe gakala, gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro. Bano bantu abatategeera, eyamukola tamusaasira, n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.
12 Et il arrivera en ce jour-là que l’Éternel battra au fléau depuis le courant du fleuve jusqu’au torrent d’Égypte, et vous serez rassemblés un à un, fils d’Israël!
Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu.
13 Et il arrivera en ce jour-là qu’on sonnera de la grande trompette; et ceux qui périssaient dans le pays d’Assyrie, et les exilés du pays d’Égypte, viendront et se prosterneront devant l’Éternel, en la montagne sainte, à Jérusalem.
Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.

< Isaïe 27 >