< 2 Timothy 3 >
1 But know this: that in the last days, grievous times will come.
Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu.
2 For men will be lovers of self, lovers of money, boastful, arrogant, blasphemers, disobedient to parents, unthankful, unholy,
Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda,
3 without natural affection, unforgiving, slanderers, without self-control, fierce, not lovers of good,
nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi,
4 traitors, headstrong, conceited, lovers of pleasure rather than lovers of God,
nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda;
5 holding a form of godliness but having denied its power. Turn away from these, also.
nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.
6 For some of these are people who creep into houses and take captive gullible women loaded down with sins, led away by various lusts,
Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri,
7 always learning and never able to come to the knowledge of the truth.
abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima,
8 Even as Jannes and Jambres opposed Moses, so these also oppose the truth, men corrupted in mind, who concerning the faith are rejected.
nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu.
9 But they will proceed no further. For their folly will be evident to all men, as theirs also came to be.
Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng’obwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.
10 But you followed my teaching, conduct, purpose, faith, patience, love, steadfastness,
Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange,
11 persecutions, and sufferings—those things that happened to me at Antioch, Iconium, and Lystra. I endured those persecutions. The Lord delivered me out of them all.
n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna.
12 Yes, and all who desire to live godly in Christ Jesus will suffer persecution.
Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga.
13 But evil men and impostors will grow worse and worse, deceiving and being deceived.
Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula.
14 But you remain in the things which you have learnt and have been assured of, knowing from whom you have learnt them.
Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali.
15 From infancy, you have known the holy Scriptures which are able to make you wise for salvation through faith which is in Christ Jesus.
Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu.
16 Every Scripture is God-breathed and profitable for teaching, for reproof, for correction, and for instruction in righteousness,
Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu,
17 that each person who belongs to God may be complete, thoroughly equipped for every good work.
omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.