< Isaiah 20 >
1 In the year that Tartan came to Ashdod, (when Sargon the king of Assyria sent him, ) and fought against Ashdod, and took it;
Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba;
2 At the same time spoke the LORD by Isaiah the son of Amoz, saying, Go, and loose the sackcloth from off thy loins, and put off thy shoe from thy foot. And he did so, walking naked and barefoot.
mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.
3 And the LORD said, As my servant Isaiah hath walked naked and barefoot three years [for] a sign and wonder upon Egypt and upon Cush;
Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi;
4 So shall the king of Assyria lead away the Egyptians prisoners, and the Cushites captives, young and old, naked and barefoot, even with [their] hind-parts uncovered, to the shame of Egypt.
bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi.
5 And they shall be afraid and ashamed of Cush their expectation, and of Egypt their glory.
Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe.
6 And the inhabitant of this isle shall say in that day, Behold, such [is] our expectation, whither we flee for help to be delivered from the king of Assyria: and how shall we escape?
Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’”