< Første Kongebog 11 >
1 Kong Salomo elskede foruden Faraos Datter mange fremmede Kvinder, moabitiske, ammonitiske, edomitiske, zidoniske og hetitiske Kvinder,
Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo,
2 Kvinder fra de Folkeslag, HERREN havde sagt om til Israeliterne: "I må ikke have med dem at gøre og de ikke med eder, ellers drager de eders Hjerte til deres Guder!" Ved dem hang Salomo i Kærlighed.
nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala.
3 Han havde 700 fyrsfelige Hustruer og 300 Medhustruer, og hans Hustruer drog hans Hjerte bort fra Herren.
Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya.
4 Da Salomo blev gammel, drog hans Hustruer hans Hjerte til fremmede Guder, og hans Hjerte var ikke mere helt med HERREN hans Gud som hans fader Davids.
Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala.
5 Salomo holdt sig da til Astarte, Zidoniernes Gudinde, og til Milkom, Ammoniternes væmmelige Gud.
N’atanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu katonda ow’omuzizo ow’Abamoni.
6 Således gjorde Salomo, hvad der var ondt i HERRENs Øjne, og viste ikke HERREN fuld Lydighed som hans Fader David.
Sulemaani n’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama n’atagobererera ddala Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
7 Ved den Tid byggede Salomo en Offerhøj for Kemosj, Moabs væmmelige Gud, på Bjerget østen for Jerusalem, og for Milkom, Ammoniternes væmmelige Gud;
Sulemaani n’azimba ebifo ebigulumivu ku kasozi akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi, ng’abizimbira Kemosi katonda ow’omuzizo ow’Abamowaabu, ne Moleki katonda ow’omuzizo ow’Abamoni.
8 og samme Hensyn viste han alle sine fremmede Hustruer, som tændte Offerild for deres Guder og ofrede til dem.
Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo.
9 Da vrededes HERREN på Salomo, fordi han vendte sit Hjerte bort fra HERREN, Israels Gud, der dog to Gange havde ladet sig til Syne for ham
Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri.
10 og udtrykkelig havde påbudt ham ikke at holde sig til fremmede Guder; men han holdt ikke, hvad HERREN havde påbudt ham.
Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama.
11 Derfor sagde HERREN til Salomo: "Fordi det står således til med dig, og fordi du ikke har holdt min Pagt og mine Anordninger, som jeg pålagde dig, vil jeg visselig rive Riget fra dig og give din Træl det.
Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo.
12 Dog vil jeg ikke gøre det i din Levetid for din Fader Davids Skyld men jeg vil rive det ud af din Søns Hånd.
Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga.
13 Kun vil jeg ikke rive hele Riget fra ham, men give din Søn en Stamme deraf for min Tjener Davids Skyld og for Jerusalems Skyld, den By, jeg udvalgte.
Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”
14 HERREN gav Salomo en Modstander i Edomiten Hadad af Kongeslægten i Edom.
Awo Mukama n’ayimusiza Sulemaani omulabe erinnya lye Kadadi Omwedomu, ow’olulyo olulangira mu Edomu.
15 Thi dengang David lod Edomiterne hugge ned, da Hærføreren Joab drog op for at jorde de faldne og hugge alle af Mandkøn ned i Edom -
Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi w’eggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo n’atta abasajja bonna mu Edomu.
16 Joab og hele Israel blev der i seks Måneder, til han havde udryddet alle af Mandkøn i Edom -
Yowaabu n’Abayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu.
17 da var Adad med nogle edomitiske Mænd af hans Faders Folk flygtet ad Ægypten til. Dengang var Hadad endnu en lille Dreng.
Naye Kadadi, ng’akyali mulenzi, yaddukira e Misiri n’abakungu abamu Abayedomu abaweerezanga kitaawe.
18 De brød op fra Midjan og nåede Paran; og efter at have taget nogle Mænd fra Paran med sig drog de til Ægypten, hvor Farao, Ægypterkongen, overlod ham et Hus, tilsagde ham daglig Føde og gav ham Land.
Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani okugenda e Palani. Ne bafuna abasajja okuva mu Palani, ne bagenda e Misiri, ewa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, eyamuwa ennyumba ne ttaka, era n’amuwanga n’emmere ey’okulya.
19 Og da Farao fattede særlig Godhed for Hadad, gav han ham sin Svigerinde, en Søster til Dronning Takpenes, til Ægte.
Awo Kadadi n’alaba ekisa mu maaso ga Falaawo n’okumuwa n’amuwa mulamu we, muganda wa Tapenesi kaddulubaale, okumufumbirwa.
20 Takpeness Søster fødte ham Sønnen Genubat; og da Takpenes havde vænnet Barnet fra i Faraos Hus, blev Genubat i Faraos Hus blandt Faraos egne Børn.
Muganda wa Tapenesi n’azaalira Kadadi omwana wabulenzi n’amutuuma Genubasi, era Tapenesi n’amutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi n’akulira eyo wamu n’abaana ba Falaawo.
21 Da nu Hadad i Ægypten hørte, at David havde lagt sig til Hvile hos sine Fædre, og at Hærføreren Joab var død, sagde han til Farao: "Lad mig drage til mit Land!"
Kadadi bwe yali mu Misiri, n’awulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi w’eggye yafa, n’agamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”
22 Farao sagde til ham: "Hvad savner du her hos mig, siden du ønsker at drage til dit Land?" Men han svarede: "Å jo, lad mig nu rejse!" Så vendte Hadad tilbage til sit Land. Det var den ulykke, Hadad voldte: Han bragte Trængsel over Israel og blev Konge over Edom. -
Falaawo n’amubuuza nti, “Kiki ky’otofunye wano, ekikwagaza okuddayo mu nsi yo?” Kadadi n’amuddamu nti, “Tewali, naye nzikiriza ŋŋende.”
23 Fremdeles gav Gud ham en Modstander i Rezon, Eljadas Søn, der var flygtet fra sin Herre, Kong Hadadezer af Zoba.
Katonda n’ayimusiza Sulemaani, omulabe omulala, erinnya lye Lezoni mutabani wa Eriyada, eyali adduse ku mukama we Kadadezeri kabaka w’e Zoba.
24 Han samlede en Del Mænd om sig og blev Høvding for en Friskare. Han indtog Damaskus, satte sig fast der og blev Konge i Damaskus.
Dawudi bwe yatta eggye ly’e Zoba, Lezoni n’akuŋŋaanya abasajja abajeemu n’afuuka mukulu waabwe, n’addukira e Ddamasiko, n’akiwamba, n’abeera eyo nga gy’afugira.
25 Han var Israels Modstander, så længe Salomo levede.
Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwa Sulemaani, ng’okwo kw’otadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni n’addukira mu Alamu, era n’abeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.
26 Endvidere var der Efraimiten Jeroboam, Nebats Søn, fra Zereda, som stod i Salomos Tjeneste, og hvis Moder hed Zerua og var Enke; han løftede Hånd mod Kongen.
Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow’e Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga y’omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka.
27 Hermed gik det således til Salomo byggede på Millo; han lukkede Hullet i sin Fader Davids By.
Eno y’engeri gye yajeemeramu kabaka: Sulemaani yali azimbye obusenge obuwagika, ng’azibye ebituli ebyali mu bbugwe ow’ekibuga kya Dawudi kitaawe.
28 Nu var Jeroboam et dygtigt Menneske, og da Salomo så, hvorledes den unge Mand udførte Arbejdet, gav han ham Opsyn med hele Arbejdsstyrken af Josefs Hus.
Yerobowaamu yali musajja mwesimbu, era Sulemaani bwe yalaba omulimu gwe omulungi, n’amusiima n’amufuula omukulu w’emirimu gyonna egy’amaanyi mu nnyumba ya Yusufu.
29 På den Tid hændte det sig, engang Jeroboam var rejst fra Jerusalem, at Profeten Ahija fra Silo traf ham på Vejen. Ahija var iført en ny Kappe, og de to var ene på Marken.
Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale.
30 Da greb Ahija fat i den ny Kappe, han havde på, rev den i tolv Stykker
Akiya n’addira ekyambalo kye n’akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri.
31 og sagde til Jeroboam: "Tag dig de ti Stykker, thi så siger HERREN, Israels Gud: Se, jeg river Riget ud af Salomos Hånd og giver dig de ti Stammer.
N’agamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi.
32 Den ene Stamme skal han beholde for min Tjener Davids Skyld og for Jerusalems Skyld, den By, jeg udvalgte af alle Israels Stammer;
Naye olw’omuddu wange Dawudi n’ekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu.
33 det vil jeg gøre, fordi han har forladt mig og tilbedt Astarte, Zidoniernes Gudinde, Kemosj, Moabs Gud, og Milkom, Ammoniternes Gud, og ikke vandret på mine Veje og gjort, hvad der er ret i mine Øjne, eller holdt mine Anordninger og Lovbud som hans Fader David.
Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.
34 Fra ham vil jeg dog ikke tage Riget, men lade ham være Fyrste, så længe han lever, for min Tjener Davids Skyld, som jeg udvalgte, og som holdt mine Bud og Anordninger.
“‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga y’afuga ennaku zonna ez’obulamu bwe olw’omuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka n’ebiragiro byange.
35 Men jeg vil tage Riget fra hans Søn og give dig det, de ti Stammer;
Ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Sulemaani, ne nkuwa ebika kkumi.
36 og hans Søn vil jeg give en Stamme, for at min Tjener David altid kan have en Lampe for mit Åsyn i Jerusalem, den By, jeg udvalgte for der at stedfæste mit Navn.
Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange.
37 Men dig vil jeg tage og sætte til Hersker over alt, hvad du attrår, og du skal være Konge over Israel.
Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri.
38 Dersom du da er lydig i alt hvad jeg byder dig, vandrer på mine Veje og gør, hvad der er ret i mine Øjne, så du holder mine Anordnioger og Bud, som min Tjener David gjorde, vil jeg være med dig og bygge dig et varigt Hus, som jeg gjorde det for David. Dig giver jeg Israel;
Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri.
39 men jeg ydmyger Davids Slægt for den Sags Skyld, dog ikke for stedse!"
Kyendiva nzikakkanya ezzadde lya Dawudi, naye si bbanga lyonna.’”
40 Da nu Salomo stod Jeroboam efter Livet, flygtede han til Ægypten, til Ægypterkoogen Sjisjak; og han blev i Ægypten, til Salomo døde.
Sulemaani n’agezaako okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu n’addukira e Misiri, ewa Sisaki kabaka waayo, n’abeera eyo okutuusa Sulemaani bwe yafa.
41 Hvad der ellers er at fortælle om Salomo, alt, hvad han gjorde, og hans Visdom, står jo optegnet i Salomos Krønike.
Ebyo byonna ebyabaawo ku mulembe gwa Sulemaani, ne byonna bye yakola, n’amagezi ge yalaga, byawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo ebya Sulemaani.
42 Den Tid, Salomo herskede i Jerusalem over hele Israel, udgjorde fyrretyve År.
Sulemaani yafuga Isirayiri yonna ng’ali mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana.
43 Så lagde Salomo sig til Hvile hos sine Fædre og blev jordet i sin Fader Davids By. Og hans Søn Rehabeam blev Konge i hans Sted.
N’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Awo Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.