< Izlazak 18 >
1 A Jitro, midjanski svećenik, tast Mojsijev, ču sve što učini Bog Mojsiju i svemu izraelskom narodu i kako Jahve izbavi Izraelce iz Egipta.
Yesero, kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, n’awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n’abantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri.
2 Tada tast Mojsijev Jitro povede Siporu, Mojsijevu ženu - koju Mojsije bijaše otpustio -
Ye yalabiriranga Zipola, mukyala wa Musa; kubanga Musa yali amuzzizza ewaabwe ng’amumulekedde,
3 i oba njezina sina. Jednomu je bilo ime Geršon, a to će reći: “Bijah došljak u tuđoj zemlji.”
ne batabani be babiri. Mutabani we omu yamutuuma Gerusomu, kubanga Musa yagamba nti, “Mbadde mugwira mu nsi etali yange;”
4 Drugi se zvao Eliezer, to jest: “Bog oca moga bio mi je u pomoći i spasio me od faraonova mača.”
n’erinnya ly’omulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era n’amponya ekitala kya Falaawo.”
5 Tako Mojsijev tast Jitro povede k Mojsiju u pustinju, gdje se Mojsije bio utaborio na Božjem brdu, njegove sinove i njegovu ženu.
Yesero, mukoddomi wa Musa, n’ajja ne batabani ba Musa ne mukyala we eri Musa mu ddungu, we yali asiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda.
6 Poruči on Mojsiju: “Ja, tvoj tast Jitro, dolazim k tebi s tvojom ženom i s oba njezina sina.”
Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.”
7 Izađe Mojsije u susret svome tastu; duboko mu se nakloni i zagrli ga. Pošto su se upitali za zdravlje, uđu pod šator.
Awo Musa n’afuluma n’agenda okwaniriza mukoddomi we; n’akutamako ng’amulamusa, n’amugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, n’oluvannyuma ne bayingira mu weema.
8 Mojsije je onda pripovijedao svome tastu o svemu što je Jahve učinio faraonu i Egipćanima zbog Izraelaca; o svim nezgodama što su ih snašle na putu, ali ih je Jahve od njih izbavio.
Musa n’anyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo n’Abamisiri ng’abalanga Isirayiri; n’ebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.
9 Jitro se radovao svemu dobru koje je Jahve učinio Izraelcima i što ih je oslobodio od egipatskih šaka.
Yesero n’asanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ng’abanunula ku Bamisiri.
10 “Neka je hvaljen Jahve koji vas je izbavio od egipatskih šaka i od šaka faraonovih”, reče Jitro.
Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri.
11 “Sada znam da je Jahve veći od svih bogova jer je izbavio narod ispod egipatske vlasti kad su s njim okrutno postupali.”
Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.”
12 Zatim Jitro, Mojsijev tast, prinese Bogu žrtvu paljenicu i prinos. Uto dođe Aron i sve izraelske starješine da s Mojsijevim tastom blaguju gozbu pred Bogom.
Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, n’awaayo eri Katonda ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.
13 Sutradan Mojsije sjede da kroji pravdu narodu. Narod je oko njega stajao od jutra do mraka.
Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi.
14 Vidjevši Mojsijev tast sav trud što ga on za narod čini, rekne mu: “Što to imaš toliko s narodom? I zašto ti sam sjediš, a sav narod stoji oko tebe od jutra do mraka?”
Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?”
15 “Narod dolazi k meni”, odgovori Mojsije, “da se s Bogom posavjetuje.
Musa n’addamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda by’ayagala.
16 Kad zađu u prepirku, dođu k meni. Ja onda rasudim između jednoga i drugoga; izložim im Božje zakone i odredbe.”
Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”
17 “Nije dobro kako radiš”, odgovori Mojsiju tast.
Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi.
18 “I ti i taj narod s tobom potpuno ćete se iscrpsti. Taj je posao za te pretežak; sam ga ne možeš obavljati.
Ggwe, n’abantu bano bonna abajja gy’oli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bw’omu.
19 Poslušaj me. Svjetovat ću te, i Bog će biti s tobom! Ti zastupaj narod pred Bogom; podastiri Bogu njihove razmirice.
Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ng’ali naawe. Osaana obeere omubaka w’abantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe.
20 Poučavaj ih o zakonima i odredbama; svraćaj ih na put kojim moraju ići, upućuj ih na djela koja moraju vršiti.
Bayigirize amateeka n’ebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu n’emirimu gye basaanidde okukola.
21 Onda proberi između svega puka ljude sposobne, bogobojazne i pouzdane, koji mrze mito, te ih postavi za glavare puku: tisućnike, stotnike, pedesetnike i desetnike.
Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi.
22 Neka sude narodu u svako doba. Sve veće slučajeve neka preda te iznose, a u manjima neka sami rasuđuju. Olakšaj sebi breme: neka ga oni s tobom nose.
Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako.
23 Ako tako uradiš - i Bog ti to odobri - moći ćeš izdržati, a sav ovaj narod odlazit će kući u miru.”
Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”
24 Mojsije posluša savjet svoga tasta i učini sve kako ga svjetova.
Musa bw’atyo n’awuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, n’akolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira.
25 Probere Mojsije sposobnih ljudi od svih Izraelaca pa ih postavi za glavare narodu: tisućnike, stotnike, pedesetnike i desetnike.
Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, n’abafuula abakulembeze b’abantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, n’abalala ebikumi, n’abamu amakumi ataano ataano, n’abalala kkumi kkumi.
26 Oni su sudili narodu u svako doba. Teže slučajeve iznosili bi Mojsiju, a sve manje rješavali sami.
Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.
27 Zatim Mojsije otpusti svoga tasta i on ode u svoju zemlju.
Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.